Abasirikale nga bakutte abadde Ssaabaddu w’e Kira, Nathan Kaggwa Kasibante (Ekif. kya NTV)
BYA EMMA MUGEJJERA
BULANGE- MENGO
NEWS EDITOR MEDIA
OBWAKABAKA bufuumudde Nathan Kaggwa abadde ow’Eggombolola Ssaabaddu, Kira, mu Ssaza lya Kabaka erya Kyaddondo ng’alangibwa bwa mawale, obunyoomi n’okwekobaana n’ababba ettaka ly’Embuga y’eggombolola.
Ono yasoose kukwatibwa ku Lwokuna ab’akakiiko ka Anti-Corruption Unit – State House nga bali wamu n’aba Office of the President Special Task Force – Land Matters & Environment, oluvannyuma lw’Obwakabaka okwekubira enduulu ku kkobaane erigenda mu maaso e Kira, ku basaatuukira n’okubba ettaka lya Kabaka eriwezaako yiika 46.
Nathan Kaggwa Kasibante eyalibadde omusaale mu kukuuma ettaka ly’Embuga ate yeyeekobaana n’abasatuusi bakole olukujjukujju babbe ettaka lya Kabaka.
Yazze yekaliisa ng’ettundutundu lya yiika ssatu eryasendeddwa nga bayiyeewo n’omusenyu bw’agenda okukulaakulanyaawo kyokka nga bw’abuuzibwa ani yamuwadde olukusa, tanyegwa. Kwekukwatibwa agende abitebye.
Kati no olunaku lw’eggulo, Nathan Kaggwa yayimiriziddwa ku bwa Ssaabaddu e Kira, ye n’olukiiko lwe ne bafumuulwa. Wabula ag’omunda gagamba, ono obwa mawaggali, obwa mawale n’okwagala okubba ettaka ly’Embuga ye kanaaluzaala.
Mu bbaluwa eyawandiikiddwa munnakateeka Owek. Christopher Bwanika, Ssaabawolereza wa Gavumenti ya Kabaka era minisita wa Gavumenti ez’ebitundu, Kaggwa yalagiddwa okuddako ebbali n’olukiiko oluliwo (Executive) kisobozese Obwakabaka okwekenneenya emivuyo n’emirerembe ku ttaka ly’eggombolola bye yenyigiddemu.
Ebbaluwa yaweereddwako kkopi; Katikkiro, Omumyuuka asooka owa Katikkiro, Omumyuuka ow’okubiri owa Katikkiro, Minisitule w’Olukiiko, Kabineeti n’Amawulire, Minisita w’Ettaka, Obulimi ne Bulungibwansi, Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Kaggo, Omumyuuka asooka owa Kaggo, Omumyuuka owookubiri owa Kaggo, Ssenkulu wa Buganda Land Board ne Ssenkulu Namulondo Investments Ltd.
Abalala abagifunyeeko kkopi ye; Ssaabadduumizi wa Poliisi, Regional Police Commander (KMP), Anti-Corruption Unit – State House, Office of the President Special Task Force – Land Matters & Environment, RDC Kira Municipality, DPC Kira Police Station ne DISO Kira Municipality.
YIINO EBBALUWA MU BUJJUVU:
Nkulamusizza nnyo era nkwebaza emirimu gy’oweereza mu Bwakabaka okuva Ssaabasajja lweyakulonda okukulembera Eggombolola Ssaabaddu Kira nga 07/09/2021.
Ku nsonga eyo waggulu, njagala okukutegeeza mu butongole nti okuva olwaleero nga 10 Ssebaaseka 2022 osabiddwa okuddako ebbali n’olukiiko oluliwo (Executive) kisobozese Obwakabaka okwekenneenya emivuyo n’emirerembe ku ttaka ly’eggombolola bye wenyigiddemu.
Abadde Ssaabaddu w’e Kira Nathan Kaggwa lwe yakwatiddwa (ekifaananyi kya NTV)
Kirambikiddwa bulungi mu nkola z’Obwakabaka ne mu buvunanyizibwa obwakukwasibwa nti tosobola kwesalirawo ku nkulaakulana y’egombolola nga toyise mu mitendera n’okulambikibwa minisitule ekutwala.
Mu ebyo byonna ebibade bigenda mu maaso ku mbuga y’Eggombolola Ssaabaddu Kira, owabuddwa enfunda eziwera era enkiiko ezakasembayo, lwe lwa nga 02/06/2022 olwatuuzibwa minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu mu ofiisi ye ate n’olwa nga 08/06/2022 olwatuuzibwa Owek. Pulof. Twaha Kaawaase omumyuuka asooka owa Katikkiro mu offisi ye, naye ggwe ng’okola by’oyagala.
Awo no, okunonyereza kugenda mu maaso era ebinavaamu kwe kuneesigamizibwa eby’enkomeredde ebinaakutegeezebwa mu butongole.
Mu kiseera kino, Ow’essaza Kaggo y’akwasiddwa obuvunanyizibwa bw’Eggombolola n’omumyuuka we asooka Haji Ahmed Magandaazi okutambuza emirimu gy’Eggombolola obutereevu n’okulaba nga waliwo obutebenkevu ku Mbuga era teweyongera kukolebwako mirimu gitakkiriziddwa.
Era olwokuba ensonga zaloopeddwa ku Poliisi ne mu b’obuyinza abalala, okusalimbira ku Mbuga kijja kuleetera oyo yenna atakkiriziddwa kukolerako mu butongole, okukwatibwa n’okusibibwa.
Ssaabasajja Kabaka Awangaale.
Olina ky’oteesa ku ggulire lino? Weereza obubaka ku WhatsApp 0772523039