Bya Meddie Kityo
LUBAGA SOUTH
AB’E LUBAGA South, nga bwe bakyalinda eby’omulamuzi Simon Byabakama ow’akakiiko k’ebyokulonda, beekubyemu akalulu ku ani mubaka wabwe addako, gyebiggweredde nga owa People Power Aloysius Mukasa bonna abegwanyiza ekifo kino abamezze kya bugazi nga mw’otwalidde ne Hon. Paulo Kato Lubwama akirimu.
Okulonda okujjumbiddwa abakulembeze ab’enjawulo naddala ku ludda oluvuganya gavumenti ya NRM, ebikuvuddemu biraga, Hon. Kato Lubwama afunye akalulu kamu (01) kokka!
Abalala abakoze obubi ennyo, ye Mumbejja Eugene Nassolo ne looya Xavier Katabalwa nga nabo buli omu afunye akalulu kamu kamu, olwo owa People Power Aloysius Mukasa, musajja wa Hon. Bobi Wine obululu n’akukumba bukukumbe.
Kansala Evelyn Nakiryowa ng’ono era ye LC I Chairperson wa Tomusange Zone mu Ndeeba eyakuliddemu okulonda bw’abadde alangirira agambye, “Nga neeyambisa obuyinza obwampereddwa okuteekateeka okulonda kuno, nnangirira omuwanguzi nga simulala, ye Hon. Aloysius Mukasa awangude ku bitundu 85% banne ne bagabana obutundutundu obusigaddewo.”
Mu kalulu kano akaabadde ak’obwerufu nga kayindidde ku mukutu gwa DP Lubaga South Constituency ogujjuddeko abakulembeze mu Lubaga aba ku buli mutendera, bakira kayinda n’abaagala ekifo kino weebali bakoota buliro newankubadde bo tebalonze.
Mu balala abaabadde mu lwokaano kuliko Kiyingi ng’ono yabuseeyo n’obululu bubiri, Bbaale n’akalulu kamu ate ye Samuel Walter Lubega Mukaaku n’aviirayo awo ng’ogusima ebbumba, tabozzeeyo kabonero!
Nga yeebaza abalonzi n’abesimbyewo olw’empiisa ze baayolesezza ekyayambye okumaliriza obulungi okulonda kuno okwacamudde Bannalubaga South, Kansala Nakiryowa yagambye mu Lubaga South omubaka addako yafunyise dda.
Omukyala ono ajjukira ennyo ku Mambo Baado ya CBS yagambye, “Okulonda kwesigamiziddwa ku mazima na bwenkanya. Buli omu bakira agoberera ebigenda mu maaso.”
“Era nga bulijo obumulumulu tebubulamu, naye tebulemese kulonda kugenda mu maso. Tuyozaayoza Hon. Mukasa olw’obuwanguzi. Kino era kyeeraze nti munna People Power Aloysius Mukasa, mu 2021 wakuyisa mukka mu kisero.” Kansala Nakiryowa bwebagambye n’ategeeze nti, “Atamatide n’ebivudde mu kulonda kunno, wadembe okugenda mu kkooti naye nga yo ey’abantu, esazeewo, kiwedde.” Waliwo amaloboozi bakira agawulirwa nga gatolotooma nti tegamatidde bulungi okwabadde erya Kyagaba owa Nassolo, eyafunye akalulu akamu.
Lubaga South ky’ekimu ku bitundu ebisuubirwa okubaamu okulya n’okukomba essowaani mu kalulu akajja kyokka ng’aba people power bawera nti omuntu waabwe Aloysius Mukasa bamwagala mu Palamenti enkuba k’etonnye oba omusana okwaka.
LWAKI EBYA KATO LUBWAMA BIBI
Ono nga kati y’akiikirira Lubaga South, abatunuulizi b’eby’obufuzi mu Lubaga bagamba, ne bw’agenda ku ku muganga, kizibu okudda ku bwa MP bw’ekitundu kino.
Eby’ono si birungi n’akamu era ttiimu ya People Power yamugoba dda, beerayiridde okulaba nga tawangula kalulu mu 2021 bamusomese essomo ery’okudda ku Hon. Kyagulanyi ne People Power n’abajerega n’okwegatta ku bagirwanyisa.
Kato okulya ekifo kino, yasiguukulula Pulezidenti wa CP John Ken Lukyamuzi oluvannyuma lwa ttiimu ya TJ eyaduumirwa Loodimeeya Ssalongo Erias Lukwago okumusaggulira akalulu mu Lubaga.
Wabula bukya kalulu kaggwa, Kato yeefuulira ba Lukwago n’atandika okulumba Loodimeeya ne FDC ng’abavuma bubi nnyo.
Ennaku ezo, Habib Buwembo owa FDC yatwala Kato mu kkooti ng’amulanga kuba na mpapula za buyigirize njingirire.
Obuwagizi bwa Kato bukenderedde ddala, abaakulira kkampeyini ze nga Musa Lusembo tebakyava wa Bobi, Lukwago agamba oba avaayo aveeyo, FDC ewera kumulwanyisa ate yo People Power erina kandideeti waayo nga ye Mukasa.
Kato ne bwaleeta malayika y’aba amusabira akalulu, ebiriwo biraga tayinza kudda mu Palamenti ab’e Lubaga gyebagamba nti n’olulimi olwogererwayo lumuzannya.
Ttiimu ya Kyagulanyi esibidde ku mugagga omuto Aloysius Mukasa, omusuubuzi omututumufu mu Ndeeba n’e Najjanankumbi era bagamba Kato n’amala alinnya mu kkampu yabwe, yalinyumizaako abewaabwe.