BAWEZE 9: OMUSAWO MUNNAYUGANDA PROSSY KABUNGA EKIRWADDE KYA KOLONA NAYE KIMUTTIDDE MU AMERIKA

0
889

BOSTON, USA

BANNAYUGANDA abali mu mawanga g’ebweru naddala mu ggwanga ly’Amerika batulaajanidde tubongere essaala oluvannyuma lw’ekirwadde kya Kolona okutugumbula omusawo Prossy Kabunga ng’ono abadde mwannyina w’omusumba Yawe Kalya!

Prossy Kabunga afiiridde ku mulimu ng’ataasa obulamu bw’abalwadde abalala mu Ssaza ly’Amerika eriyitibwa Boston Massachusetts mu kibuga Barrington Waltham ku ssaawa ttaano ez’ettuntu ly’eri.

Omugenzi Prossy Kabunga (aliko akasale) bw’abadde n’abafamire ye mu biseera eby’eddembe

Okusinziira ku atuweerezza eggulire lino ery’ennaku, Prossy Kabunga kati awezezzaomuwendo gwa bannayuganda 9 abakattibwa ekirwadde kino ki kalibukambwe  so nga bo abali ku ndiri, tobala. 

“Omugenzi era abadde akolera mu Nursing Homes era nga musawo omukugu.  Abadde muganda w’Omuky. Deborah Kalya ng’ono mumanyifu mu ssaza ly’e Boston. Famire eno emanyiddwa nnyo, bantu Balokole era nga bakolagana na buli muntu.” Omu ku basoose  okufuna amawulire g’okufa kwa Prossy Kabunga bweyatugambye ng’asinziira mu ggwanga ly’Amerika.

Tekinnamanyika oba amawulire ga mwannyina okufa ekirwadde kya Kolona, omusumba  Yawe Kalya, gamusanze Uganda ng’azze kulambula pulojekiti ze omuli amasomero.

Ku ntandikwa ya wiiki eno, Haji Mugerwa ng’ono ye taata wa munna FDC Eng. Arafat Kiggundu eyaliko omukulembeze w’abayizi mu Muteesa 1 Royal University naye ekirwadde kya Kolona kyamutugidde mu Amerika.

Kyasoose kutta mwannyina gweyali yagenda okukyalira.

Mugerwa yava Uganda n’ayitirako e Dubai ng’eno kirowoozebwa gyeyajja ekirwadde n’akiyingiza mu famire ya mwannyina mu Amerika.

Mukazi wattu gwekyasoka okujja mu bulamu bw’ensi n’aleka abaana be babiri nga bataawa mu ddwaliro. Kati Haji Mugerwa lwamututte kyokka ne muganda we omulala abeera mu Amerika eyajja okumulabako ng’akyalidde mwanyinaabwe, naye ekimbe kyamusise.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here