BIBI: E BUNGEREZA OMULANGIRA OMUKULU EKIRWADDE KYA KOLONA KIMUYODDE, E UGANDA OMUWENDO GULINNYE

0
399

Bya Emma Mugejjera

MINISITA omubeezi ow’eby’obulamu mu Uganda Dr. Joyce Moriku Kaducu abadde yakategeeza eggwanga ng’omuwendo gw’abalina ekirwadde kya Kolona bwegulinnye okuva ku bantu 9 okutuuka ku 14 nga ku bapya kuliko ne baby ow’emyezi 8, e Bungereza nayo nevaayo amawulire ag’entiisa!  

Omulangira omukulu Charles ow’empaka 71 ekirwadde kya Kolona woosomera bino nga kimaze okumuyoola era ye n’omukyala Camilla baggyiddwa awali abantu abalala ne batwalibwa a Balmoral mu Scotland si kulwa nga nabo babasiiga.      

Omwogezi wo mu Lubiri agambye, “Kituufu omulangira Charles akebereddwa era ebyuuma biraga, ekirwadde kya Kolona kimuyodde. Kyokka abasawo bakola buli kisoboka okutaasa obulamu bwe ng’embeera gy’alimu teyeeraliikiriza.”

Wabula amawulire gategeezezza nti ye omukyala Camilla ebyuuma biraze nti talina kirwadde kino.

Ye omwogezi w’Olubiri lwa Nabakyala wa Bungereza oluli e Buckingham agambye, Nabakyala Elizabeth yakoma okulaba ku mutababi we nga 12/03/2020.

“Nabakyala ali mu mbeera nnungu ng’agoberera buli kyamulagiddwa abasawo ku bulamu bwe.” Omwogezi w’Olubiri bw’ategeezezza omukutu gw’amawulire ogwa BBC.

Omulangira Charles yalabiddwako ab’eddwaliro lya NHS Aberdeenshire, ng’eno gyebaakamutemedde.

“Kizibu okumanya ani yasiize Omulangira Charles ekirwadde kya Kolona okusinzira ku nsisinkano ez’enjawulo zeyabadde nazo mu wiiki eziyise.  where they met the criteria required for testing.

Abakozi mu maka g’Omulangira abawerako, nabo balagiddwa obutagezaako kuva  mu maka gaabwe.

Mu ggwanga lya Bungereza, abamaze okufuna ekirwadde kya Kolona bali eyo mu 8000 nga ku bano, 422 kyamaze dda okubaserengesa e Kaganga. 

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here