Bya Emma Mugejjera
EGGWANGA nga lirindirira biki Pulezidenti Museveni by’agenda okwogera leero ng’eno omuwendo gw’abalwadde ba Kolona mu ggwanga gw’ongera kulinnya, ababaka ba Palamenti Allan Ssewanyana owa Makindye West ne Muhammad Nsereko owa Kampala Central baagala ayimirize ssente z’obupangisa, okuggyako amasannyalaze n’omusolo gw’amayumba.
Bano betwogeddeko nabo bw’atugambye, singa leero bino Pulezidenti anaabibuusa amaaso, ajja kuba aleseewo omuwaatwa munene nnyo mu kulwanyisa ekirwadde kya Kolona kuba abantu basula ku bwerinde olwa bannyini bizimbe ko n’amayumba mwe basula okwagala ssente z’obupangisa nga bino by’ebimu ku bibagaana okubeera mu maka gaabwe nga omukulu bweyabalagidde, ne badda mu kuguluba nga banoonya ssente.
Ababaka bano batugambye, “Pulezidenti ateekwa okuyimiriza amagoba gonna bbanka gezijja ku beziwola okumala emyezi ena. Tumusuubira okuyimiriza ssente z’omulangira lwaki okumala emyezi esatu ng’eggwanga bweryetegereza embeera.”
Hon. Ssewanyana ne Hon. Nsereko baagala era Pulezidenti asooke agyewo omusolo gw’amayumba eggwanga lisooke live mu kaseera aka nawookera wa Kolona.
“Twagala Pulezidenti agira ayimiriza okusasula amazzi n’amasannyalaze, wabeewo ekya gavumenti okugaba emmere eri abo abatalina mwasirizi kuno ssaako n’ebikozesebwa ebirala mu balamu obwabulijjo nga ssabbuuni, omuliro, sukaali n’amafuta g’ettala.” Ababaka bwebaategeezezza.
Baagala Pulezidenti ayogere ku kya gavumenti ye okugabira buli maka ebikozesebwa mu kunaaba engalo (sanitizers) n’obugoye obw’okwebikka mu maaso (face masks).
“Tukimanyi nti ebyo byetumenye waggulu basobolera ddala okussibwa mu nkola kubanga minisitule y’ebyensimbi yasabye ennyongereza ya buwumbi 700 okulwanyisa Korona. Ezimu ku ssente ezo zisoboleraddala okukola ku byetwogendeko waggulu awo.” Ababaka bwebagambye ne balabula nti singa bino tebiikolweko, ekirwadde kyaliba ebizibu okutuula ku nfete.