BYA GEORGE W. KATOLOBA

OLWALEERO, lutikko ya Paulo Omutukuvu e Namirembe ewuumye abantu ba Nnyinimu bwe bukungaanye okwebaza Katonda olw’obulamu bwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II n’okumusabira ng’Obuganda bujaguza Olwa Ssaabasajja okuweza emyaka 31 ng’atudde ku Namulondo ya bajjajjaabe alamula ensi Buganda.

Ssabasajja Kabaka yatikkirwa nga 31/07/1993 e Naggalabi-Budo ku mukolo gw’ebyafaayo ogwetabwako nasiisi w’omuntu. Waali wayise emyaka kumpi 27 bukya eyali Pulezidenti Kawenkene Milton Obote Opeto awera Obwakabaka n’obukulembeze bw’ensikirano bwonna mu Uganda.
Pulezidenti Museveni bweyaggula olutalo ku kalibujoozi Obote mu 1981, yasaba abantu ba Buganda bamuwagire n’asuubiza okuzzaawo Obwakabaka kyeyatuukiriza mu 1993, Mutebi bweyatuuzibwa ku Namulondo ya bajjajjaabe. Kabaka yasiimye n’ayogerako eri Obuganda ng’ayitira ku ntimbe za ttivvi.

OKWOGERA KWA KABAKA MU BUJJUVU; LEERO AYOGEDDE MUKAMBWE
Tuli basanyufu okutuuka ku lunaku luno kwetujjukirira n’okujaguza amatikkira gano Kabaka ag’omulundi ogwa 31.
Twebaza Katonda olw’obulamu bw’atuwadde n’obujjanjabi bwetufunye okuva mu nsi ez’enjawulo. Twebaza abasawo olw’obujjanjabi ate era nga bakyatujjanjaba.
Wewaawo obulamu bwaffe bweyongedde okutereera naye olw’embeera n’ebiragiro by’abasawo, tetusobodde okubeegattako nga bwegubeera bulijjo.
Twebaza omulabirizi w’e Namirembe Moses Banja, Dean wa lutikko n’abaweereza bonna abakulembeddemu okusaba kuno.
Newankubadde tetubaddewo nga tuli ebweru mu kujjanjabibwa, ebintu byonna ebibaddewo tubadde tubigobera bulungi.
Olugero olugamba nti enkuba eryokanga n’etonnya ne tulaba ensiisira bwezenkanya emyoyo, lutuukiridde.
Bulijjo tubakuutira okwegatta, okukuuma n’okussa ekitiibwa mu nnono n’empisa zaffe. Wano omulabe wayiinza okuyita singa tugayaalirira ensonga zino.
Embeera gyetuyiseemu mu myezi egiyise eviiriddemu abamu mu butamanya oba mu bugenderevu okuvvoola n’okumenya empisa y’ensi n’okweyisa mu ngeri etasaanidde. Bakoze ebintu bungi okuwubisa abantu baffe ebikwata ku Namulondo n’Obwakabaka. Kino kya bulabe ddala. Abantu abo musaana okubegendeeza. Tujjukiza abantu baffe ensonga zino;
● Kabaka alina emisoso n’enkola egobererwa ng’atuula ku Namulondo era Kabaka talondebwa abakulu b’Obusolya. Abataka ab’enkizo bamanyiddwa bulungi era nabo bemanyi era bamanyi n’obuvunaanyizibwa bwabwe.
● Kabaka alamula Obwakabaka ng’ayambibwako Katikkiro ye Kabaka yenyini gw’aba yeerondedde era Kabaka taba na musigire.
● Mu nnono zaffe, Kabaka alina eddembe okuteekawo oba okudibya empisa ezimu okusinziira ku mulembe nga bwegubeera.

Twebaza abantu bonna n’okusingira ddala ahavubuka baffe, abo bonna abaliemitala w’amayanja olw’omukwano n’ohuwulize eri Namulondo. Kisaanidde omukwano ogwo gukuumibwe era gulagibwe nga mulimu empisa n’obuntubulamu nga bwekimanyiddwa okuva edda n’edda.
Twebaza abantu bonna abeetabye mu kusaba kuno era netusiima nyo omulimu ogukoleddwa abateesiteesi.
Mukama abeere nammwe, nsanyuse nnyo okubabuzaako.

EKIBADDE E NAMIREMBE
Okusaba kukulembeddwamu Sabalabirizi w’e Kanisa ya Uganda His Grace Dr. Samuel Stephen Kaziimba Mugalu ategezeeza nga bwekiri eky’essanyu amatikkira gano okugakuuza ng’omuteregga ali munsi ye Buganda.
“Ku lw’ekkanisa ya Uganda, njozaayoza nnyo Beene era tumwebaza olw’obuweereza obw’essimba eri abantu be mu myaka 31. Katonda tumwebaza olwokukuuma Kabaka nga mulamu.” Ssaabalabirizi bw’ategeezezza abantu ba Kabaka abajjuzza lutikko yonna n’ebooga ne wabweeru ne wakwatirira.

EKIF: Ssaabalabirizi Kaziimba Mugalu ng’abuuza ku Katikkiro Mayiga n’omukyala

Bwabadde abuulira mu kusaba kuno, Ssaabalabirizi agambye tutekeddwa okuyiga okwebaza ennyo Katonda kubanga akozesezza Beene okutumbula ebyobulamu, n’ategeeza ng’enkola eno bweyambye abantu okubeera abalamu.
Omulabirizi w’Obulabirizi bw’e Namirembe Rt. Rev. Moses Banja asoomozeza abantu ba Buganda okwekuumira mu bumu okusobola okunyweza ekitiibwa Kya Buganda kubanga obumu gemaanyi mu kukuuma Namulondo.

Omulabirizi Moses Banja

Bishop Banja ng’abuuza ku maama Nabagereka

Banja akubiriza abantu okwongera okusabira embeera y’obulamu bwa Nnamunswa wamu n’okwongera okubeera abakozi ennyo, “Olwo tusobole okusitula embeera zaffe nga twenyigira mu mirimu egy’enjawulo omuli ebyobulimi, obulunzi n’entekateeka endala nnyingi nnyo ddala.
Omulabirizi akubirizza buli muntu okufuba okukozesa obulungi ettaka mu nkola eyokutumbula embeera y’ebyenfuna.
Atendereza Bbene olwokutumbula eby’enjigiroza wabula nalaga okutya olw’abantu ate ababifuddefudde n’obutakozesa bulungi ebyo ebyatandikibwawo.
Yekokodde obugayaavu obweyongedde mu bantu ekireese obwaavu ng’abantu buli lukya badda mu kulowooleza mu kuweebwa obuweebwa.
Avumiridde eky’abantu abatyobola ekitiibwa kya Namunswa nga bayiita ku mitimbagano bwatyo nabasaba okuyiga okwefuga nga bongera, nga bakozesa omutimbagano era bafube nnyo okukozesa obulungi oluliimi oluganda.
Omulabirizi Banja asomozeza buli muntu okubeera n’eddembe, okutyanga Katonda wamu n’okugala Kabaka.

Mu kusaba kuno, abalabirizi okubadde Henry Katumba Tamale Omulabirizi wa West Buganda , Omulabirizi w’e Namirembe eyawumula Wilberforce Kityo Luwalira ne Bishop Hannington Mutebi Omulabirizi Omubeezi owa Kampala basabidde Ssabasajja Kabaka wamu n’Obwakabaka bwa Buganda.
Mu bubaka bwa Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja obumusomeddwa Minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda yekokodde abantu abazze batyoboola embeera y’obulamu bwa Kabaka kyokka namutemdereza olw’obukozi bwe obugasse Buganda ne Uganda eyawamu.
Nabbanja atenderezza Katikkiro olwobugumiikiriza n’okulemerako, wakati mu kuvumibwa n’okuttoboola kw’abamu ku bavubuka n’abantu ab’enjawulo.
Mu kwogera kwe, Kamalabyonna wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga ayogedde ensonga enkulu eyalondesezza okukuliza amatikira ag’omulundi ogwa 31 mu lutiiko ya Paulo Omutukuvu e Namirembe.
Agambye, Kabaka abasawo tebatannaba kumukkiriza kwetaba mu bantu bangi n’asaba buli muntu okubeera omuguminkiriza wamu wamu n’okusoosoowaza embeera yobulamu bwe.

Abayizi ba Mengo Senior nga bayimba

Katikkiro ategezeezza nti Nnamunswa emyaka 31 ng’ali ku Namulondo bwe wakyaliwo ebisomooza omuli abo abatemaateema mu Bwakabaka, obutaweebwa fedeero, abalwanyisa Namulondo, abaletaawo enjawukana mu Buganda wamu n’obutawa kitiibwa Namulondo.
Katikiro ategezeeza nti ekiwanguzza Buganda okutuuka weeri leero kibadde bumu nga Beene ayaniriza buli muntu awatali kusosola mu langi, eggwanga oba ekikula.
“Obugunjufu bwabuli kintu kyonna, bweyolekera mu nneeyisa ya muntu nga n’olwekyo tusanye okufaayo ennyo nga tukola byonna ebikolebwa.” Katikkiro bw’agambye n’asaba abantu ba Kabaka okusigala nga bali bumu okulwanyisa abantu abagenderera okubatemaatemamu Obuganda.
Okusaba kwetabyeko abakulembeze b’enzikiriza ez’enjawulo, Rev. Samuel Muwonge akulira ekitongole ekibuulizi ky’enjiri mu BulabiriBulabirizi bw’e Namirembe, bannabyabufuzi, abasuubuzi, abakulembeze ku mitendeea egy’enjawulo n’abaana b’amasomeero.

Olina eggulire lyonna ly’oyagala tukufulumize? Kuba eba weereza obubaka ku 0701523039

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here