Omusuubuzi omututumufu Abby Mugumba ng’annyonnyola RPC Nkulega ku ngeri landiloodi Mabano gy’aleetamu emivuyo mu lufula atabangule emirimu gyabwe

Bya Meddie Kityo
WAKISO
NEWS EDITOR MEDIA

WAABADDEWO katemba mu lufula esangibwa wali e Nakuwadde-Bbira, masanafu ku kkubo eridda e Ssentema, abasuubuzi abaabadde bakunukkiriza mu 2000 bwe baasinzidde mu lukiiko lw’ebyokwerinda olwayitiddwa afande Peter Nkulega aduumira Poliisi mu bbendobendo ly’amambuka ga Kampala ne baatulira Godwin Mabano nnyinittaka okutudde lufula eno okuba emabega w’okupangisa bakanyama atabangule emirimu gyabwe!
Ono bakira aseka mu ngeri ey’amagyeemulukufu, abasuubuzi baamulumiririzza mu maaso ga RPC Nkulega ng’omululu bwegumutawaanya nga mu kifo ky’okukkuta ssente zebakkanyaako mu ndagaano y’obupangisa ey’emyaka 25, azze akola omupango okutabangula ekifo kino, asobole okweddiza omulimu gwabwe.
RPC Nkulega, omumyuuka we Charles Nsaba, DPC wa Wakiso ayitibwa Tai n’abakulu ba poliisi abalala, landiloodi Godwin Mabano yasoose kubefuunza n’abalambuza ekisenge ku lufula awagenda okussibwa Poliisi oluvannyuma n’abatwala mu kisenge weyategese boogereko n’abasuubuzi kyokka ng’obutebe bukalu! 

RPC olwamubuuzizza lwaki abasuubuzi beesambye olukiiko ko landiloodi Mabano nti babuzaabuziddwa abakulembeze baabwe okuli Ssentebe John Kariisa, Godfrey Kyazze, Patrick Bampabula, Luyombya n’abalala.
Wabula RPC Nkulega olwalabye nga by’ateekwa okubuulira abasuuuzi ate abigamba butebe, kwekuyimiriza olukiiko n’agamba bafulume banoonye abasuubuzi gyebali. 
Abasuuuzi olwakitegedde nti olukiiko lwa Mabano luyiise, bo kwekukunga olwabwe era mu ddakiika nga kkumi, ng’ekifo webaategese olukiiko kyonna kibooze.
RPC Nkulega yatuukidde mu mizira kyokka kino tekyagaanyi kusooka kumunenya okubuzibwabuzibwa Mabano so nga talina buyinza bwonna ku basuubuzi.
Nkulega mu kubaanukula yagambye, “Tubadde tuteekwa okubanoonya tbannyonnyole ekituleese. Tetuzze mu bya ndoliito zammwe, tuggyiridde nsonga za byakwerinda kw’ekifo kino naddala nga tuyingira ebikujjuko bya Paasika ne Eid. Tugenda kunyweza eby’okwerinda by’ekifo kino nga tussamu poliisi era tujja kuyambibwako amagye ga UPDF!”
Yategeezezza abasuubuzi ba lufula nga Uganda bw’etambulira ku nfuga y’amateeka, “Ffe omulimu gwaffe kuteeka mateeka mu nkola. Bw’ozza omusango, nze bwenzija okukukwata tonyiigira nze, mba nkozesa tteeka.Tuzze kubakunga mwewale obuzzi bw’emisango, okuleeta abakolera wano okulwanirawo n’obwakirereese.”
Yalabudde abaagala okukola omuvuyo mu lufula nti bagenda kubakolako.
Abasuubuzi abakulembeddwamu Abbey Mugumba bannyonnyodde poliisi nga bo bwe bali abantu ab’emirembe, obudde bwe balina bwakunyweza mulimu gwabwe kyokka landiloodi Mabano y’apangisa abakozi b’efujjo batabangule omulimu gwabwe.
Mugumba basuubuzi banne gwe bawagidde ennyo yagambye, “Alipoota z’ebyokwerinda ezimu ezikolebwa nga ziraga ffe abasuubuzi tuteekateeka obutabanguko wano,  bya bulimba, bipangibwa landiloodi waffe Mabano atubbeko omulimu gwaffe kyetutalikkiriza. Tuli bantu ba mirembe era poliisi tugyanirizza mugireete wano mujja kwekanga nga Mabano ne basajjabe bebakwatiddwa mu buzzi bw’emisango n’okutabangula ekifo kino.”
Yayogedde ku bakirereese Afande Nkulega beyayogeddeko, Mugumba n’agamba bo buli gwebalina musuubuzi era ekifo kyabwe kikola essaawa 24.
Bino bakira bigenda mu maaso ng’abasuubuzi bakuba enduulu ey’oluleekereeke nga balaga obuwagizi eri kkampuni ya Wakiso City Slaughter House (U) Ltd egatta abasuubuzi bonna era nga yeyakola endagaano ne Mabano, nnyinittaka.
Gyebyaggweredde ng’abasuubuzi bakikubye, bamatizza poliisi nga bwebatalina lutalo lwonna era bakuuma mulimu gwabwe.
Afande Nkulega yalagidde abakozi bonna abakolera mu lufula bawandiikibwe, ekyabasanyusizza ne bagamba kijja kubayamba okumanya obulungi abakozi b’efujjo abapangisibwa Landiloodi Mabano bajje batabangule ekifo.

Olukiiko olwawedde, abasuubuzi ne batandika okuyisa ebivvulu okwebaza abakulembeze baabwe olw’obukulembeze obulungi, nga bwe basaba abakuumaddembe obutaddamu kkozesebwa abalwanyisa omulimu gwabwe, ne babakwatira obwemage n’okubaggulako ebisangosango.

Alina ky’oteesa ku ggulire lino, weereza obubaka bwo ku www.newseditor.info@gmail.com

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here