Ekif: Omubaka Mukasa ng’aganzika ekimuli ku sanduuko y’omutuzeewe Lubyayi eyafiiridde mu kabenje
BYA MARY NAKASI, NEWS EDITOR
OMUBAKA Aloysius Mukasa olunaku lw’eggulo yakulembeddemu ebikumi n’ebikumi by’abantu ba Lubaga South okugenda e Manyama Kaliisizo mu kuziika abadde mutuuze munnaabwe mu Wilson Zone -Ndeeba, omugenzi Denis Lubyayi eyafiiridde mu kabenje ku Lwokutaano akaavudde ku mpompogoma y’ekinnya ekiri mu luguudo wakati awo mu Ndeeba okuliraana essundiro ly’amafuta era Shell!
E Kaliisizo Hon. Mukasa gyeyasinzidde n’akambuwalira gavumenti ya NRM okuddira ssente z’omuwi w’omusolo mu Uganda ezizimbemu enguudo ku muliraano mu ggwanga lya Congo n’amamasomero e Tanzania ne yeebuuza wa abakola kino gyebajja ettima ku bannayuganda eryenkanidde awo.
MP Mukasa eyakoze ku by’okuziika omutuuze we ate ng’abadde munnakibiina kya NUP yakunze abeeyo okuwakanya omupango gw’okubaggyako eddembe ly’okwerondera Pulezidenti, aba NRM gwe baliko n’abalagira essaawa bw’eriba etuuse, bamalangayo n’agomubuto okulaba nga teri abaggyako ddembe libaweebwa Ssemateeka okwwrondera abakulembera.
Okuziika kwetabiddwako Alhajj Ali Nganda Mulyanyama meeya w’e Makindye, Lord councilor Faridah Nakabugo n’abakulembeze bangi.
Kitalo nnyo bannaffe!
Olina amawulire agafudde mu kitundu kyo oba ekifaananyi ekikola eggulire? Yogerako n’omukunganya waffe omukulu ku WhatsApp 0772523039