● Zibadde zitutte emyaka ebiri nga baddereeva balwanagana
● Buubuno obukulembeze obupya obutongozeddwa
● Ziizino siteegi 35 ezikkiriziddwa mu paaka enkadde
BYA MOSES MUGALULA
NEWS EDITOR MEDIA
OLANAKU lw’eggulo, minisita Hajjati Minsa Kabanda avunanyizibwa ku Kampala n’emiriraano yazzeeyo mu ppaaka enkadde gye yakubye olukungaana lw’abakulembera enzirukanya ya Taxi.
Ku Lwomukaaga, minisita Kabanda lweyagguddewo paaka enkadde mu butongole ng’eno bukya eddaabirizibwa KCCA ebaddemu enkaayana z’amanyi ng’abagagga bannyini puloti mu paaka enkadde bagamba baagala kuzikulaakulanya, paaka eveewo. Okutuusa pulezidenti Museveni lqeyabiyingiddemu.
Bweyazzeeyo olunaku lw’eggulo, minisita yalagidde Mw. Rashid Ssekindi omukulembeze w’ekibiina kya UTOF ekiddukanya Taxi zonna, asseewo obukulembeze mu ppaaka enkadde n’empya, kuba gavumenti ekooye enkayana ezitaggwa.
Ekiragiro kya minisita, bunnambiro kyassiddwa mu nkola, Rashid Ssekindi ng’ali n’omumyuukawe Mustafa Mayambala bagenze mu ppaaka empya ne basalawo eggoye ku ani anakulembera ba dereeva.
Haji Badiru Sserunjogi kyaddaaki yalangiriddwa ku bwassentebe bwa ppaaka empya ate ye Noordin Mukuye bwe baludde nga bagugulana, n’aweebwa eky’obumyuuka wadde yalabise ng’atamatidde na nsalawo eno.
Bino byonna bakira bigenda mu maaso nga Eng. Luyimbaazi, amyuuka nankulu wa Kampala waali abyota muliro.
Ono yeyaleese n’ebisumuluzo bya ofiisi ya badereeva eyali yaggalwa, n’abikwasa Ssekindi naye oluvannyuma eyagiguddewo wakati mu mizira egyasaanikidde ppaaka empya yonna.
Ssekindi bakira ayogera nga Mayambala bw’akkaatiriza, yagambye, “Ntumiddwa minisita wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda okubategeeza nti Haji Badiru ye Ssentebe wa paaka empya era agenda kumyuukibwa Noordin Mukuye. Era nze ng’omukulembeze owokuntikko, nzize kuggulawo ofiisi eyali yaggalwawo okumala emyaka ebiri.”
Mukuye kaabuze katya bakanyama bamulyewo akasukibwe ebweru wa paaka olw’okugezaako okujeemera ekiragiro kya minisita ng’agamba y’alina okubeera Ssentebe.
Ssekindi yamulabudde nti singa anagenda mu maaso n’okukola amampaati yabadde wakugobwa mu paaka kuba tebakyayagala mivuyo.
Yagambye, “Oba nze ne Mustafa Mayambala bwetuludde nga tulwana twegasse olw’obulugi bw’omulimu gwaffe era kati tuli kimu, mmwe kiki ekibagaana okukolagana?”
Yo mu paaka enkadde, Karim Mulindwa ye ssentebe ng’amyuukibwa Peter Kirabira. Bano bo bakolagana era emirimu gikwajja.
SITEEGI Y’ENTEBE EGOBEDDWA
MU PAAKA ENKADDE
Ku biragiro minisita Kabanda byeyawadde, mmotoka ezidda e Ntebe zaagobeddwa mu paaka enkadde. Yalagidde zidde ziddeyo mu paaka ya Usafi.
Minisita agaanyi ekya mmotoka ezidda awamu okubeera ne si siteegi mu paaka ez’enjawulo. Okugeza, ez’Entebe zirina kubeera mu paaka ya Usafi.
Zo ez’e Luweero, aziragidde zibeere mu paaka y’e Namayiba.
ZIIZINO SITEEGI 35 EZIKKIRIZIDDWA MU PPAAKA ENKADDE
Siteegi zino ezaasomeddwa mu lukiiko lwa minisita Kabanda zeezino;
1.Bugerere coaster 2. Bugerere Kigege 3.Busia 4. Buziga 5. Bweyogerere ‘B’ 6.Bwaise 7. Gayaza Busiika Nakasajja 8.Ggaba 9. Jinja ‘A’ 10. Jinja ‘B’ 11.Kawempe -Ttuula 12. Kamwokya 13. Kansanga 14. Katosi 15. Kawempe Maganjo 16.Kawolo Lugazi 17. Kibuli 18. Lira 19. Luzira ‘A’ 20.Luzira ‘B’ 21. Makerere 22. Mbale Tororo Malaba Palisa 23. Mbuya Kinawataka 24. Mengo Rubaga 25. Mpererwe Kalerwe 26. Mukono ‘A’ 27. Mukono ‘B’ 28. Mulago Kitala TASO 29. Muyenga 30. Naguru Jokas Bweyogerere 31. Namuwongo 32. Nsambya 33. Ntinda Nakawa 34. Nagongera Busoolwe.
ENSASULA Y’OMUSOLO GWA KCCA
Buli Taxi ekolera mu Kampala yakusasula emitwalo 72 buli mwaka ate ezifuluma Kampala okugenda mu disitulikiti endala, zo zakusasula emitwalo 84.
Ssente zino osobola okuzisasula mu bitundutundu.
Omukungu wa KCCA yagambye baddereeva nti okuwandiisa taxi yo, oteekeddwa okugenda n’ebbaluwa y’obubukembeze bwa siteegi kw’okolera.
Alina ky’oteesa ku ggulire lino, tukubireko ku 0701523039