Minisita Kyewalabye Male atwala Ebyobuwangwa, Embiri n’Ennono ayogedde lwaki bataddewo akakiiko ku biraamo by’Abataka abakulu b’ebika

0
536

Owek. Kyewalabye Male lwe yakyalira embuga ya Namuyonjo e Bugerere

Bya Meddie Kityo

NGA 22/02/2019, Ssaabasajja yasiima n’alonda Owek. David Kyewalabye Male ku bwaminisita avunaanyizibwa ku by’Obuwangwa, Ennono n’Embiri mu nkyukakyuka Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mwe yakendereza omuwendo gwa baminisita be okuva ku 25 ne bafuuka 14. Owek. Kyewalabye avunaanyizibwa ku biri mu Lubiri ayogedde naffe ku nsonga eziwerako.
Munyiivu eri abo abapeeka Katikkiro Charles Peter Mayiga okubabuulira ku bulwadde bwa Kabaka, agambye butamanya nnono ya Buganda kye kibatawanya.
Mu mboozi eyaakafubo n’omusasi waffe, Owek. Kyewalabye agambye abo abeefuula nti baagala Kabaka ne batuuka n’okugenda ku mitimbagano gye bawandira omuliro ku nsonga ze batamanyiiko, ne balumba Katikkiro n’abakungu ba Kabaka abalala, bakikola lwa butamanya bya buwangwa, nnono na bulombolombo bwa Buganda.
Yagambye nti, “Mu nnono za Buganda, Kabaka talwala, Kabaka addugala buddugazi. Teri Muganda amanyi nnono ayinza kugamba nti Kabaka mulwadde. Kubanga mu bulamu bw’abantu be, talina kuba nti mugonvu. Abaganda batwala Kabaka okuba nga Katonda waabwe ow’oku nsi. Mu nnono, Abaganda bakkiriza nti Katonda waabwe ow’oku nsi, nannyini nsi Buganda, obulwadde obukwata abantu ye tebumukwata. Katonda waabwe talwala. Ekyo ky’ekitiibwa kya Kabaka mu nnono zaffe.”
Yiino emboozi mu bujjuvu;

Ekibuuzo: Ggwe nga Minisita avunaanyizibwa ku Buwangwa, Ennono n’Embiri, tolaba nsonga yonna ya ssimba mu babuuza Katikkiro ku by’obulamu bwa Kabaka?
Owek. Kyewalabye: Mu nnono zaffe, Kabaka talwala. Ye Katonda w’ensi Buganda. Eyo y’enzikiriza yaffe. Abo abatambuza bye batamanyi ku mitimbagano, tebamanyi nnono. Ffenna kye twebuuza, ebiruubirirwa byabwe bye biriwa? Kubanga bw’oba ogamba oli Muganda ossa ekitiibwa mu Kabaka naye nga tosobola kuba muwulize eri Kabaka n’abakulembeze mu Bwakabaka, kwe kugamba kitegeeza ennono ya Buganda togimanyi.

Ekibuuzo: Okubuuza ku bulamu bwa Kabaka kitegeeza butamanya nnono?
Owek. Kyewalabye: Mu nnono ya Buganda Kabaka tabeerako kintu kibi. Ebigambo byonna ebimukozesebwako, tebibeera bya lulimi lwa bulijjo ne bw’abeera ali mu ssanyu oba mu nnaku. Ebigambo ebikozesebwa ku Kabaka, si bye bakozesa ku muntu waabulijjo nga nze Kyewalabye. Okugeza; Kabaka teyeebaka, awummulamu buwummuzi. Kubanga okwebaka kufaananyiriza kufa. So tewali kiseera w’oyinza kugambira nti Kabaka tatufuga. Kubanga bw’ogamba nti yeebase oba ng’ategeeza nti mu kiseera ekyo, si y’ali mu mitambo gy’Obwakabaka bwe. Mu nnono za Buganda, Kabaka aba teyeebase wabula abeera awummuddeko buwummuzi ekitegeeza nti akyali mu mitambo gya Bwakabaka bwe.
Toyinza kugamba nti Kabaka alya emmere, Kabaka abeera mu bibbo. Ggwe omukopi ggwe olya. Kabaka tabeera na Kisaakaate, abeera na Lubiri. Ggwe ne bw’ozimba obwaguuga bw’enju, toyinza kugiyita Lubiri. Olubiri lubeeramu Kabaka yekka. Ekyo kiba Kisaakaate.

Ekibuuzo: Abagamba nti Nnamasole alina Olubiri bakikola mu bukyamu?
Owek. Kyewalabye: Nedda. Naye abeera n’Olubiri. Mu Buganda, Nnamasole yekka y’alina obuyinza kumpi obuvuganya n’Obwakabaka. Ye maama wa Kabaka. Era Kabaka bw’agaana okukusonyiwa omusango, n’ojulira ewa Nnamasole n’agamba nti nkusonyiye, ogwo omusango guba guwedde. Nnamasole ye yekka akkirizibwa mu Buganda okuba n’endowooza endala ku ya Kabaka, tewali mulala. Kubanga kikkirizibwa nti omuzadde maama abeera wa kitiibwa.

Ekibuuzo: Nnamasole naye wa kitiibwa?
Owek. Kyewalabye: Ye. Edda, Buganda yabeeranga n’abeebitiibwa bana bokka: Owek. Katikkiro, Owek. Omulamuzi, Owek. Omuwanika n’Owek. Nnamasole. Abasigadde bonna babeera nga bakungu. Ebitiibwa ebyo bigaziyiziddwa ku mulembe gwa Kabaka Mutebi. N’alagira nti buli akika mu Lukiiko, abeera wa kitiibwa.

Ekibuuzo: Ogambye abantu abatamanyi nnono be bali mu kutyoboola Kabaka, Katikkiro, Obwakabaka n’ennono y’Abaganda. Minisitule yo ekozeewo ki okubangula abantu nga bano abasinziira ku mikutu Mukwanirawala bamanye obukulu bw’ennono n’empisa zaffe mu Buganda, beewale okumala googera ku bye batamanyi?
Owek. Kyewalabye; Ekisooka, ffe ng’Obwakabaka tukola buli kisoboka okuyimirizaawo empagi essatu eziyimirirako Obwakabaka. Mu mpagi zino mwe muli; Abataka, Abalangira n’Abambejja, ssaako n’empagi y’Abaami. Ago oyinza okugayita amasiga asatu agatuulako Obwakabaka. Amasiga gano asatu gaddamu okunywezebwa wano jjuuzi mu 1993 Obwakabaka lwe bwazzibwawo oluvannyuma lw’okusaasaanyizibwa mu 1966. Kyokka ate ne mu 1966 amasiga gano asatu gaagenda okusaasaanyizibwa obukulembeze bwa Kawenkene Obote, ng’abafuzi b’Amatwale baatandika dda okuganafuya. Mu 1966, yali ntikko ey’ekyo ekyatandikibwa omufuzi w’Amatwale.

Ekibuuzo: Tubadde tulowooza okutabanguka kw’Obwakabaka kwatandikira ku Dr. Milton Obote mu 1966, amagye ge lwe gaalumba Olubiri, Ssekabaka Muteesa II n’awang’anguka, ekyaddirira kukisa mukono?
Owek. Kyewalabye: Bw’osoma mu byafaayo byaffe, mu bufuzi bw’Amatwale kumpi tewaali Kabaka yafuga mu mirembe okuviira ddala ku Ssekabaka Daudi Chwa. Ono ate yabonyaabonyezebwa nnyo Abazungu olwo nga batandise okwagala okukutula mu ggwanga lye. Nga bagamba obuyinza buli Ntebe obw’Omuzungu ne mu Palamenti yaabwe. Abazungu bennyini mu ndagaano ya 1900 baddira obuyinza bwa Kabaka ne babwawuzaako ne bamugabanyiza ku nsi ye gye yalinako obuyinza. Ne bamutemeratemerako ky’alina okufuna nga kino baakikolera mu Lukiiko mwe yali atudde n’abaami be abakulu okwali; Sir. Apollo Kaggwa, Stanislas Mugwanya ne Zacharia Kisingiri. Era ne bw’olaba omugabo gw’abaami ba Kabaka abaali mu ndagaano y’Olwenda nga batemaatema ebyo, omugabo ogwabwe gwasukkuluma. Kubanga baafuna ng’abantu ne bafuna ate nga woofiisi.

Ekibuuzo: Ebintu byasoba kuva mu ndagaano ya 1900?
Owek. Kyewalabye: Okuva mu 1900, twalina Kabaka nga muto nga ye Daudi Chwa. Sir. Apollo Kaggwa eyali Katikkiro, yafugako Buganda nga Kabaka newankubadde yali Katikkiro. Noolwekyo, okuva awo wonna, Buganda ezze eyuuga. Bino bye mulaba nga waliwo abatyoboola Nnamulondo, kyazimbibwa bafuzi b’Amatwale. Nga bateesa ku nsonga z’Obwakabaka nga tebasoose kufuna lukusa kuva wa Kabaka. Nga bakola ebintu n’abaali abakuza. Abazungu baatawaanya nnyo Daudi Chwa. Y’alinga ataalina buyinza ng’aguluba n’Abazungu. Yatuukanga n’okuva mu Lubiri n’abeerako ewa maama we e Salaama. Ky’ova olaba, Daudi Chwa yalina Olubiri e Salaama. Teyafuna nnyo mirembe.

Ekibuuzo: Ne ku Muteesa II?
Owek. Kyewalabye: Ye. Kyokka ono yawakanya nnyo Abazungu. Mu bumpimpi, okuva mu 1900 okutuuka kumpi ku mulembe Omutebi, Buganda teyafugibwako Kabaka ng’atandika nga mukulu. Noolwekyo kitegeeza, mu kiseera ekyo, obuyinza Kabaka bwe yandibadde nabwo mu bujjuvu, bwali wakati we n’abali abamuddukanyizaako gavumenti. So Obwakabaka ogwo gwe muyaga bwe guzze guyitamu era mu 1966, Obote kwe kujja n’abukuba ekigwo ekisembayo. Byatandikira mu kibalo ky’Abazungu nga ne Kabaka asobola okuvuganya mu by’obufuzi bya Uganda nga naye alina okukola ekibiina avuganye. So, Obote yakozesa magezi g’Abazungu okusaanyaawo Obwakabaka. Eky’alinga nti Kabaka ky’ayagala, Abaganda be bamulwanirira, ne kikyusibwa nga ky’ayagala asooka kukirwairira. Obuyinza obumu ne budda mu mikono gy’Abaganda. Ky’ova olaba waliwo Abaganda na buli kati abalowooza nti bo be balina eddoboozi eri Kabaka. Era ky’ova olaba na buli kati, baagala balage nti eno embeera be bagimusalirawo. So nga mu nnono za Buganda, Kabaka ye y’entandikwa era y’enkomerero. Kabaka takola nsobi, abaami be be bakola ensobi. Ye tasobya. Era olw’okuba tasobya, Kabaka teyeetonda. Tayinza kuvaayo n’agamba nti bannaffe tubeetondedde nnyo.

Ekibuuzo: Ebyafaayo bino bye bivuddeko abasiiwuufu b’empisa ku mitimbagano abayisa olugaayu mu Nnamulondo?
Owek. Kyewalabye: Ebyafaayo bino bye bigenze bisaanyaawo ennono zaffe. N’owulira okwegugunga kw’Abataka, Abataka bbu n’emirala. Gino gyali mipango gy’Abazungu.

Ekibuuzo: Obwakabaka buvuddewo mu 1966?
Owek. Kyewalabye: Abantu bangi baalowooza nti Obwakabaka tebuliddawo. N’ebintu bingi ebyali eby’Obwakabaka baabigana. Abaami abaalina obuvunaanyizibwa bwonna ebintu byafuuka bya baana baabwe. Y’ensonga lwaki ebitaawuluzi byonna byatundibwa, ettaka ly’Amagombolola lyazimbibwako, ebiggwa eby’ennono ne bisengwako nga baalowooza Obwakabaka buweddewo.
Kati Obwakabaka bugenze okuddawo, ng’ebyokukolako bingi. Nga kati olina okuzzaawo Obwakabaka naye ate n’okusomesa abavubuka bakitegeere ekintu kye bazzeemu. Nti Kabaka buno bwe buvunaanyizibwa bwe era ennono egamba bweti ne bweti.

Ekibuuzo: Bano abavuma Katikkiro n’okuyisa olugaayu mu Nnamulondo tebalina bika mwe bava? Lwaki tebibagunjula kuba Obwakabaka bwaddawo n’ebika weebiri?
Owek. Kyewalabye: Abafuzi b’Amatwale ne Obote okulumba Olubiri mu 1966 kyanafuya nnyo Obwakabaka ne kitwaliramu n’ebika. Ky’ova olaba ebika ebiwerako, bibadde mu kkooti ya Kisekwa nga biwoza misango egyekuusa ku by’obusika. Kubanga mu biseera ebyo ebika byalimu obunkenke bw’amaanyi nnyo n’abamu ku bakulu b’ebika babinnyika mu nsuwa. Noolwekyo, ebintu byaffe olw’okuba biri mu nnono, bye tukola byonna biri mu nnono nga twetaaga obudde bungi okubisomesa abantu. Kuba kati ebika ebimu tuzza bizze.

Ekibuuzo: Zo kkooti z’ebika zikyaliwo?
Owek. Kyewalabye: Luli twabanga ne kkooti okuviira ddala ku luggya ppaka ku Kasolya. Kabaka yandagira ne mbawandiikira bazizzeewo. Ng’ekigenderwa, enkaayana eziri mu kika zimalibwewo mu mitendera egy’ebika. Kati era kye tugezaako okuzimba mu bajjajjaffe Abataka abakulu b’ebika okukakasa nti kkooti z’ebika ziddawo. Nga bwe wabeerawo obutakkaanya mu bazzukulu, busobola okukolebwako mu bika ne buggwaawo.

Ekibuuzo: Owek. Ebika ebimu ng’ekyengeye, Enkima n’Enseenene, birina abakulembeze babiri babiri. Lwaki ensonga y’obukulembeze mu bika ebalemedde ddala okugonjoola?
Owek. Kyewalabye: Egonjoddwa naye abamu ba mputtu. Kabaka asaze emisango mingi. Ogw’Ekkobe yagusala, n’asala Ogw’Engeye, n’emirala mingi.

Ekibuuzo: Naye waliwo abaatamatira n’ensala eyo naddala Abengeye era baddukira mu kkooti enzungu.
Owek. Kyewalabye: Buli lw’okola ekyo, obeera ovudde mu nnono. Kabaka mu buyinza bwe, ateekawo ekika ekipya oba okuggyawo ekyo ekiriwo. Abennyonyi, yali emu oba bbiri, Ssekabaka Muteesa ye yazisaasaanya, n’azifuula ez’omuwendo. Kuliko omu eyamutabangula, eyali omukulu w’ekika nga tamuwulira. N’akiggyawo. Ky’ova olaba ng’Ennyonyi kati nnyingi. Kabaka Mutebi y’akutudde mu Mmamba n’azifuula ssatu. N’Emitima y’agikutuddemu ne gifuuka ebiri. Obwo bwe buyinza bwa Kabaka. Kubanga mu ndagaano y’Ennono, Kabaka gye yakola n’Abataka, obuyinza obwo baabuwa Kabaka Ssaabataka nti mu bonna y’abalamula. Noolwekyo, obuyinza obutondawo essiga bwa Kika, kyokka Kabaka y’alina obuyinza obukakasa essiga eryo. Okuva ku ssiga okutuuka ku mukulu w’akasolya, Kabaka nga Ssaabataka, y’abakakasa. Y’ensonga lwaki buli lwe wabaawo omukulu w’ekika omupya, bamutwala ne bamwanjulira Ssaabataka.

Ekibuuzo: Naye enkaayana mu bika zisusse?
Owek. Kyewalabye: Nedda ebika byabangamu enkaayana. Ennaku zino ekiriwo, emikutu gy’amawulire mingi buli kimu gikifulumya mangu. Naye Kabaka azze asalawo eggoye mu bika eby’enjawulo. Okugeza, Abenseenene, yagamba Kalibbala y’akulira ekika ky’Enseenene, n’alagira Mugalula bamuwe essiga. Ggwe okyalaba ng’Abenseenene bakaayana?

Ekibuuzo: Mu kika ky’Engeye, waliwo abagamba nti Charles Mayanja Kyesimba ye yadda mu bigere bya kitaawe eyali Kasujja. Ate b’ani abaalaga Hajji Minge (kati omugenzi) ewa Kabaka nti ye Kasujja?
Owek. Kyewalabye: Baali baalya ensowole. Wakati awo baali baawamba. Y’ensonga lwaki Kabaka yazzaayo Obwakasujja oluvannyuma lw’enjuyi zombiriri okuwoza. Era eno y’ensonga lwaki Minge baamutereka Busujja ku butaka bw’Abengeye.

Ekibuuzo: Naye ate ettaka ly’e Busujja ekyapa kiri mu mannya ga Charles Mayanja Kyesimba.
Owek. Kyewalabye: Ekyo kituufu era tugezaako okukitereeza n’Abengeye. Nteekateeka okugendayo essaawa yonna. Obwakabaka bwe bwavaawo, abaali baddukanya ebintu by’Obwakabaka abamu baabiwamba. Olaba ekyabadde ku ttaka ly’e Kyambogo. Oba basobola okubba Kabaka wano w’asula ate olwo e Busujja? Oli n’akyusa yiika ezisukka mu 600 n’aziwa omuntu omulala. Ettaka ly’ebika lyonna lyabeerangako Nnamwama. Ettaka erimu, baaliwandiisa nga liriko amannya g’abakulu b’ebika naye nga basosaako ekitiibwa kyabwe okugeza ‘Kasujja’ ekitegeeza ettaka lya kika. Naye kati baatuusa ekiseera nga baliwandiisa ng’eryabwe. Nnankere ow’Emmamba Kakoboza, kitaawe ettaka yalisingira Omuzungu era ne balitunda. Kyokka ate n’aliraamira omwana! Embeera ey’obutabeera na bwesimbu si ya nnaku zino. Kubanga oli bw’afa n’alaamira omwana we, omwana we ayinza obutakola bulungi. Abaana abatunda ettaka, ne mu bakulu b’ebika mwe bali.

Ekibuuzo: Obutaka bw’ebika, liba ttaka nga lya mukulu wa kika oba lya muntu buntu?
Owek. Kyewalabye: Buba butaka bwa kika. Ennaku zino nasaba Abataka nti buli mukulu w’ekika, ateekewo akakiiko akalaba ku kiraamo kye. Balabe biki by’ateeseemu. Ne mu bika, basseewo obukulembeze obulaba ku biki omukulu w’ekika by’alamye. Kubanga ebimu ku bitabangudde ebika, by’ebiraamo by’abakulu b’ebika. Mu byafaayo byaffe, buli butaka bw’ekika we buli, ekika ekyo we kisibuka.

Ekibuuzo: Ettaka ly’ebika lyaweebwayo Bwakabaka?
Owek. Kyewalabye: Erimu lyaweebwawo Bakabaka ab’enjawulo, naye erimu baalifuna mu butaka bwabwe. Abempologoma e Lwadda, Abengo baali batambula ne bayita mu Busujju omwo, ne basibira e Butambala, Ab’ennyonyi Endiisa ne basibira e Buddu era ne bagamba nti tusiisidde wano. Kati buli kika we kyasangibwa, awo waafuuka ewaakyo. Kati noolwekyo Obwakabaka bwe bwanywera Abazungu nga bamaze okujja, ne babanywereza buli kika we kyali. Naye nga ekiri mu ekyo, olwokuba ffenna tusibuka mu musaayi gumu, obwo bwe butaka bwaffe. Omukulu w’ekika bw’owummula ng’omulala agenda mu maaso. Kwe kugamba, tewaalibaddewo buzibu singa eby’okutunda tebyajjamu. Nti ne bwe wandibadde katugeze ng’otunze, wandibadde otunze mu kika kyo. Nazzikuno, ng’osanga obutaka bw’ekika buliko bantu ba kika ekyo so si balala. Noolwekyo abakulu b’ebika, mu biraamo byabwe balina okubeera abeesimbu.

Ekibuuzo: Ne ku Kabaka wabeerawo ettaka erirye ng’omuntu n’eryobwakabaka?
Owek. Kyewalabye: Sir Daudi Chwa bwe yali tannakisa mukono, yakola ekiraamo kye. N’ayawula ettaka lya Daudi Chwa ng’omuntu n’erya Daudi Chwa nga Kabaka. Era yagamba nti lino ettaka ndyawudde lyange ng’omuntu, si ku lwa nga mu dda walibaawo alirigatta ku ly’Obwakabaka.
Weewaawo yawandiika Ssikweya mayiro 100, naye ziri 166.
Chwa yali mukulembeze mwesimbu era bye biraamo bye tuzze tugoberera. Ne Ssekabaka Muteesa naye yayawulamu ettaka era erirye n’aligabira abaana be. Ettaka ly’Obwakabaka teyaligaba era teyalikwatako.

Ekibuuzo: Ogambye akakiiko ku biraamo by’abakulu b’ekika kateereddwawo?
Owek. Kyewalabye: Nasabye abataka beekolemu omulimu, akakiiko ako akatunula mu kiraamo newankubadde kya kyama, twagala okumanya ennambika y’ebintu mu biraamo. Omukulu w’ekika ky’alamye, ky’ekiwa amaanyi amuddidde mu bigere.

Ekibuuzo: Naye kiki ekireese enkaayana mu bika?
Owek. Kyewalabye: Enkaayana ezisinga mu bika za byabugagga. Era bwe wabaawo aliko olutalo lw’awangudde, mu myezi esatu mumusanga aliko ky’atunze.Ate mulimu n’ababateekamu ssente basobole okuwangula.

Ekibuuzo: Nawulirako Oweekitiibwa ekirowoozo ky’okuteekawo ba ‘Trustees’ ng’omukulembeze w’ekika talina ky’ayinza kukola nga bammemba ba ‘Trustees’ tebakkiriza.
Owek. Kyewalabye: Ekyo Ssaabasajja Kabaka yakiragira dda. Okuggyako twasabye bongeremu akawaayiro nti buli kika ekiwandiisa ba ‘Trustees’ ku ttaka, ne Kabaka bamusibiremu babeere nga tebasobola kutunda ttaka nga Kabaka takitegeddeeko. Ssaabawolereza wa Buganda ali mu kukola ku nsonga eyo.

Ekibuuzo; Woofiisi yo etwala eby’obuwangwa, ekozeewo ki okugonjoola enkaayana mu bika?
Owek. Kyewalabye: Tubadde tubalaga ebiragiro bya Kabaka. Kye tusigazzaayo, kwe kumanyisa abazzukulu ekituufu. Twagala emisango gya Kisekwa nga gisaliddwa gimanyisibwe abazzukulu. Twala ekyokulabirako ky’omusango gw’ekika ky’Abembwa, Mutasingwa yagusinga naye gwe yasinga yalemera ffayiro! Twetaaga tutegeeze abantu ebivudde mu nsala. Kubanga abantu abasinga obungi tebategeera bikwata ku bika byabwe. Ekyokubiri, Kabaka mu kulambula obutaka bw’ebika, agenze ku butaka obumanyiddwa n’Omutaka amanyiddwa. Kabaka buli lw’alambula Essaza, alambula n’Obutaka bw’ekika. Kino kyongera amaanyi eri omukulu w’ekika.

Linda ekitundu ekyokubiri. Alina ky’oteesa, tuwandiikire ku newseditor.info@gmail.com

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here