NAKAWUKI AWONYE OKUMUGAJAMBULIRA E MAWOKOTA LWA BBA ALINTUMA NSAMBU KUVUMA KABAKA

0
571

Bya Musasi waffe
MAWOKOTA SOUTH

OMUBAKA Susan Nakawuki akiika mu Palamenti y’Obugwanjuba bwa Afrika atuuyanidde ku kyalo Bunjako mu Mawokota South gy’abadde agenze okusaba abaayo bamuwagire ku kifo ky’omubaka w’ekitundu kino, bwakunyiziddwa ku bya bba Alintuma Nsambu okuvuma Kabaka.
Nakawuki eyasoose okubiyita ebya mannyo wenu, abatuuze bamukaliddemu ayogere lwaki bba Alintuma Nsambu mu mwaka gwa 2009 yavvoola Ssaabasajja Kabaka n’alayira nti lwakiri okufa naye nga teyeeyaze mu maaso g’Empologoma ya Buganda. Okweyala mu maaso ga Kabaka, wano mu Buganda kabonero akalaga obuwulize n’okweyanza eri Maasomoogi.
Bano abaabadde batasalikako na musale bamugambye, “Wano Obwakabaka mu biseera webwalumbirwa, Katikkiro n’agaanibwa okugenda e Bugerere, balo Alintuma Nsambu yavaayo n’avvoola Kabaka waffe nti musajja nga ye, bonna balina omusaayi mumyuufu era tayinza kweyala mu maaso ge.”
“Ffe wano e Mawokota tuli bantu ba Kabaka era amulumba aba alumbye Buganda. Nakawuki otwagazaaki nga balo yavuma Kabaka waffe? Tuwe ensonga lwaki bbaawo yavuma Kabaka, bwezikulema, tuviire.” Abatuuze b’e Bunjako mu disitulikiti y’e Mpigi bwebabuuzizza Nakawuki.
Ebiseera bba mweyavvoolera Nyinimu, obunkenke bwali bw’amaanyi mu Buganda era byebyali ebiseera leediyo ya Kabaka CBS lweyaggyibwa ku mpewo.
Kumpi era by’ebiseera by’ebimu, abantu na buli kati abatateegeerekekanga lwebateekera omuliro Amasiro ga Bassekabaka gonna ne gabengeya.
Nsambu ebiseera ebyo eyali minisita mu gavumenti eya wakati, yakinaggukira ku Bwakabaka n’ayisa olugaayu mu Namulondo, n’atuuka n’okwewaana nti ye Nsambu ne Kabaka benkana, talyeyala mu maaso ga musajja munne bwebafaanaganya omusaayi.
Kigambibwa, bino Nsambu okubyogera, yali akola bampaane abalabe b’Obwakabaka bamususuute.
Ky’ataamanya, ebigambo bye byamenya nnyo emitima gy’abantu ba Kabaka era Obuganda ne bukyawa nnyo Nsambu ne famire ye.
Mu mwaka gwa 2011, Nsambu yesimba ku bwa MP bwa Bukoto East kyokka abantu ba Kabaka ne bamumalirako essungu. Akalulu baakamumma ne bamugamba agende akasabe beyali akolera okuvuma Kabaka.
Ne mukyalawe Susan Nakawuki naye mu kulonda kwekumu, abantu b’e Masaka Municipality gyeyali yeesimbye baamuma akalulu ne bakawa Owek. Mathias Mpuuga Nsamba, eyali minisita wa Kabaka.
Mu kuddamu okulonda omubaka wa Bukoto South, Alintuma Nsambu era yagendayo avuganye wabula n’abaayo bamutwala ntyagi.
Mu kulonda kwa 2016, Nakawuki ne bba tebaatawaana kudda.
Kati Kigambibwa, Nakawuki abadde addukidde Mawokota South abakwate obujega bamulonde mu 2021, naye abasanze nabo balaba.
Bamugobye nga bamugamba akaalo ka Buganda kaliko Nnyiniko, akalulu agende akasabe bba Nsambu bo abaviire.
Abatuuze balangidde Nakawuki okuba malaaya mu by’obufuzi ng’azze avuganya mu konsitituwensi ez’enjawulo kyokka nga talina ky’akozeeyo.
Bamugambye, “Mu 2006 abantu ba Busiro East mu Wakiso bakusaamu obwesige ne bakulonda ku bwa MP. Olwatuuka mu Palamenti wadda mu ntalo z’abasajja era abeeyo tolina kyewabakolera n’oddukayo. Mu 2011 waddukira Masaka ne bakugoba. Wuuyo mu Palamenti ya East Africa. Kaakati ozze Mpigi. Ebbanga ly’omaze mu bubaka, kiki ky’okoledde abantu b’e Mawokota South okulaga nti obafaako?”
Nakawuki yalabye abantu b’e Bunjako bamubuuse, n’assaako kakokola tondeka nnyuma.
Ono aperereza aba NRM bamuwe kkaadi avugaye ku ky’omubaka wa Mawokota South ekirimu Hon. John Bosco Lubyayi, musajja wa Kabaka.

Hon. Lubyayi ng’awaayo loole y’akawunga kagabirwe abantu be

Lubyayi ye ssentebe wa NRM atwala disitulikiti y’e Mpigi ng’abatunuulizi bagamba, Nakawuki okufuna kkaadi ya NRM, akootakoota mu ga lumonde.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here