Bya Emma Mugejjera
NEWS EDITOR
GAVUMENTI ng’eyitira mu minisitule y’ebyobulamu etumye mwanamuwala Shanitah Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black mu bamalaaya bo ku nsalo ya Uganda n’e Kenya e Malaba ssaako e Mutukula ku nsalo ya Uganda ne Tanzania, abakuyege beewale bakasitoma baabwe abavuga zi ttuleera olw’ekirwadde kya Kolona.
Bad Black amanyiddwa ennyo mu bintu bino, waggyidde akome ku banneekoleragyange nga Pulezidenti Museveni yakavaayo n’alagira abaana ab’obuwala bano obutaddamu kukkiriza baddereeva ba ttuleera ‘Okugikwatako’ okwewala okusaasanya ekirwadde kya Kolona.
Museveni yasinzidde ku muwendo gwa baddereeva ba ttuleera abalina ekirwadde kya Kolona okulinnya, n’alaga okutya nti baalikisasaanyiza ennyo mu baana ab’obuwala bebakwatako mu bubuga obuli ku nsalo ng’e Busia, n’eyo gye bajja bayitira.
Mu kwogerakwe eri eggwanga ku Lwokubiri, Pulezidenti yalagidde bekikwatako mu gavumenti okutwalira abakyala bano obuyambi mu kiseera kino, kibasobozese obutajulirira baddereeva ba ttuleera abeegulidde erinnya mu kuyingiza wano ekirwadde kya Kolona.
Mu kalango ka Bad Black aba Minisitule y’ebyobulamu ke baatadde ku mikutu egy’enjawulo agambye, “Abaana ab’obuwala naddala abali ku nsalo za Uganda n’amawanga agatwetoolodde, mbasaba okwesonyiwa baddereeva b’emmotoka za ttuleera ne bi loole mu kiseera kino nga tuli mu kulwanyisa ekirwadde kya Kolona ekitadde amawanga gonna ku bunkenke.”
“Mbasaba obutakkirizza baddereeva bano kubakwatako yadde okubasemberera. Mbakubiriza okugobeera ebiragiro by’abasawo n’okulungamizibwa kw’omukulembeze w’eggwanga.” Bad Black bw’agamba m kalango ke.
Ategeezezza banne nti, “Singa tunaakola ekyo, ekirwadde tujja kukiwangula nga Mukama ye mubeezi waffe. Jjukira obulamu bw’ebugagga.”