KABAKA ATEBUSE ABABADDE BEKIIKA MU KWOGERA KWE KU BY’EKIRWADDE KYA KOLONA, ALAGIDDE OBUGANDA OKUWAGIRA OLUTALO

0
488

Bya Meddie Kityo

SSAABASAJJA Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olwaleero yeegase butereevu mu lutalo lw’okulanyisa ekirwadde kya Covid 19 ekifukamizza amawanga gakirimegga!

Akikoze nga bwe gwali mu lutalo lwo mu nsiko olwaleeta gavumenti ya NRA/M mu buyinza, mu biseera ebyo bweyatalaaga ebitundu bya Buganda ng’alagira abantu be okusenza n’okukolagana obulungi n’abayeekera ba Yoweri Kaguta Museveni, babegatteko okufumuula wano gavumenti ya Kawenkene Apollo Milton Obote, n’abo kye baakola!

Asinzidde mu Lubiri lw’e Mmengo n’alagira abantu be okuwagira n’okussa mu nkola ebiragiro bya Gavumenti eya wakati okutuula ku nfeete akawuka ka Coronavirus!

Mu kwogera kwe eri Obuganda olwaleero ku  Lwomukaaga emisana, Nnyinimu awoomedde mu muteganswera, waliwo ebirabise ng’ebitataagaanyizza mu okwogera kwe, abantu be kwebalindidde n’amaddu mangi ku bibaddewo atuuse n’okutwala eddakiika ng’ayimirizza mu kwogera kwe.  

Agambye,  “Yiiyi, ate ng’oyo antabudde! Byembadde njogera ate sigenda kubiddamu buto!”

Kabaka azzeemu buto obubaka bwe mu ngeri y’okukkaatiriza ebyo oba olyawo ebibadde bitawuliddwa bantu be, olw’abo ababadde bekiika mu kwogera kwe.

Mu ddoboozi eggulumivu obulungi,  ayogedde eri Obuganda, n’alagira gavumenti okufa ku mbeera y’abasawo mu kiseera kino, okusoosoowaza eby’obulamu ate olwo abantu be n’abalagira okuba abayonjo, okwewala obusambattuko mu maka mu biseera bino n’okuwagira gavumenti mu kulwanyisa akawuka ka Coronavirus.

Nga bwetwalagudde ku bisuubirwa mu kwogera kwa Kabaka, byonna bituukiridde.

Soma na bino: https://www.newseditor.co.ug/2020/04/11/kabaka-ebisuubirwa-mu-kwogera-kwa-ssaabasajja-eri-obuganda-olwaleero-mu-lubiri/

Maasomoogi  agambye, “Ensonga enkulu etuleese okwogerako olwaleero, bwe bulwadde bwa Covid 19 obusasaanidde ensi yonna.”

Mu kwogera kwa Ssaabasajja okututte eddakiika musanvu zokka ategeezezza Obuganda nti, “Okusooka, tusaasira n’okusabira abantu baffe abazuuliddwa n’obulwadde buno. Tukkiriza nti obujjanjabi bwe bafuna okuva mu basawo, buggya kubayamba okussuuka.”

Asaasidde nnyo ab’enganda za bannayuganda abaafudde obulwadde bwa Covid 19 mu mawanga g’ebweru naddala mu Amerika, Bungereza n’awalala. 

Omutanda ategeezezza nti, “Tuteeka mu ssaala, n’abo abakyali mu mbeera embi ennyo mu mawanga ago bassuuke.”

“Twebaza nnyo abasawo abali ku mwanjo mu lutalo luno olw’okulwanyisa obulwadde bwa Covid 19 obugoyezza ensi yonna. Twebaza gavumenti olw’enteekateeka gy’etaddewo mu budde buno okuziyiza ekirwadde kya Kolona okusasaana.” Kabaka bw’agambye n’asaba gavumenti, “Abasawo bafibweko n’okukakasa nti, eby’obulamu mu Uganda yonna biteekebwa ku mwanjo.”

Maasomoogi, yeebazizzaamu ak’ensusso ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu ki World Health Organisation  (WHO)olw’okulambika, okusomesa,  okuwabula ate n’okutuusa ku bannansi amawulire ku by’obulamu n’enkozesa y’eddagala mu Afrika awamu n’ensi yonna okutwaliza awamu, kumpi buli  lunaku.

Nnyinimu agambye, “Tusiima nnyo obubaka obuva eri ekitongole ky’ebyobulamu obutukubiriza ku ngeri y’okwekuuma obutakwatibwa ate n’abo abalina obulwadde buno, obutabusaasaanya.”  

“Tusaba abantu baffe bonna, okugoberera enteekateeka n’endagiriro ezituweereddwa, abakugu mu by’obulamu.” Ssaabasajja bw’agambye n’ajjukiza abantu be nti, “Endwadde nnyingi kumpi ebitundu 75 ku buli 100 ziva ku bukyafu. Twagala obuyonjo obuliwo kati mu maka gaffe, ku mirimu n’ebitundu  gyetubeera, efuuke empisa yaffe ey’olubeerera.”

Kabaka asiimye abantu n’ebitongole eby’enjawulo ebiwaddeyo ensimbi ko n’ebintu ebikalu okuyambako mu kulwanyisa Covid 19 naddala eri abo abali mu bwetaavu mu kiseera kino ekizibu. 

“Tusiima n’abo bonna, abakwatiddeko Obwakabaka mu kudduukirira abali mu bwetaavu, mu kiseera kino.” Bbaffe bw’agambye, era wano kwekwongera okukubiriza n’abalala nti nabo baveeyo baweeyo eri gavumenti kubanga omulimu gukyali munene ddala.

 Ategeezezza nti, “Enkola eno ey’okuwaayo etuzzaamu nnyo amaanyi kubanga eragira ddala empisa yaffe eya Munnomukabi. Kino ky’ekiseera fenna okukolera awamu n’okuyambagana.”     

Ku ky’abasuubuzi abawanika ebbeeyi y’emmere n’ebyetaago ebirala mu kiseera kino, Kabaka agambye, “Tukubiriza abasuubuzi ne bannamakolero obuteyambisa embeera eno okulinnyasa emiwendo gy’ebintu ebikozesebwa mu bulamu bw’abantu obwa bulijjo.”

Mu ky’abantu be okutuula ku nfeete ekirwadde kya Covid 19, Kabaka agambye, “Twagala era okubajjukiza nti obulwadde buno tusobola bulungi okubwewala n’okubuziyiza singa tugoberera ennambika etuweereddwa minisitule y’ebyobulamu ku nsonga z’ebyobulamu mu Uganda.”

“Njagala era okukubiriza abazadde nti mukuume bulungi abaana. Abaami, mubeere basaale mu kulwanyisa Coronavirus, abantu baffe mwenna tubakubiriza okwewala obusambattuko mu maka wakati mu mbeera eno ey’okusoomoozebwa.” Kabaka bwatyo bw’akalaatidde abantu be.

Ng’amaliriza agambye, “Njagala  okubaagalizza okuyita obulungi mu biseera eby’amazuukira ga Yesu Kristo. Katonda abakuume.”

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here