OLUTALO KU ‘KOLONA’ E MITYANA: SSENTEBE LUZIGE ALANGIRIDDE EKIKWEKWETO VVOMWANGE KU BAAJEEMEDDE EBIRAGIRO BYA PULEZIDENTI

0
244

Bya Emma Mugejjera

MUNNAMATEEKA Joseph Luzige ssentebe wa disitulikiti y’e Mityana, ewuwe agobyeyo eby’obufuzi mu lutalo lw’okulwanyisa ekirwadde kya ‘Kolona’, agambye obululu babwagala kyokka tebajja kulondebwa bantu balwadde oba abafu.

Kati nno alangiridde ekikwekweto vvomwange ekitandika olwaleero mu ppaaka ya ttakisi e Mityana, ku maduuka ga Supermarket, amalwaliro, ebirabo by’emmere, obutale n’amaduuka agasuubuza, awanasangibwa nga tewali mazzi na ssabbuuni bikozesebwa basaabaze, abalwadde ne bakasitoma okunaama mu ngalo, ebifo ebyo byakuggalwa.

Bannyinibyo bakwatibwe era baggulweko emisango egy’ekuusa ku ku kujeemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga n’okulagajjalira obulamu bw’abantu. 

Mu kiragiro kyeyafulumizza eggulo ku Ssande, Ssentebe Luzige yagambye tagenda kukkiriza bantu be kufa olwabannyini bizineesi abeesisiggirizza.

Yategeezezza nti, “Olunaku lwa leero nafunye ebiragiro okuva mu minisitule etwala eby’obulamu n’eyebyokwerinda mu ggwanga, mbategeeze Bannamityana bannange nti mu Uganda kyaddaaki twafunye omulwadde eyasoose ow’ekirwadde kya Kolona ekyakazibwako erya hCovid-19.”

Ssentebe Luzige aba minisitule baamutegeezezza ajjukize ebitundu ebiri mu disitulikiti gy’akulembera okwerinda ekirwadde kino ekyatuuse edda mu ggwanga. 

“Bantegeezezza nti mu Mityana, Olwomukaaga baalumaze balambula ne bakizuula nti zi ssemaduuka (Supermarkets) ezisinga mu kibuga kya Mityana n’eziri mu bubuga obutonotono obw’enjawulo, tezinnasa mu nkola biragiro bya mukulembeze wa ggwanga nga okussaawo ebifo bakasitoma webanaabira engalo nga bayingira oba n’okufuluma.” Luzige bw bw’agambye mu kiwandiiko kyaweerezza Bannamityana.

Yangambye, “Mu ngeri y’emu era bantegeezezza nti n’ebirabo by’emmere ebisinga obungi, bikyeesuuliddeyo gwa Naggamba. Kuno kw’ossa amaduuka amanene agasuubuza ebintu mu Mityana agayingiza bakasitoma abangi nago gakyajeemye.”

“Kabuyonjo yaffe mu ppaaka ya ttakisi e Mityana nayo tewannasdibwawo mazzi na ssabbuuni nga ne ku miryango gya ppaaka, oguyingira n’ogufuluma tewali bikozesebwa basaabaze kunaaba mu ngalo.” Luzige bw’agambye ku mbeera eri mu Mityana.

Aba minisitule bamutumye ategeeze Bannamityana nti okutandika n’olunaku lwaleero, olukiiko lw’ebyokwerinda, abakungu okuva ku Poliisi ne mu gavumenti eya wakati, bagenda kuyita mu bibuga eby’enjawulo mu Mityana ttawuni ne mu byalo eby’enjawulo mu disitulikiti eno okuggala abo bonna abatannassa biragiro bya Pulezidenti mu nkola.

“N’olwekyo njagala kubakubira omulanga,  bannyabo ne bassebo benjogeddeko waggulu awo naddala ab’amalwaliro gonna, obulwaliro obutonotono obwa gavumenti n’obwobwannanyini, ab’amaduuka  ne mu ppaaka, musseewo ebikozesebwa mu kunaaba mu ngalo.” Munna NRM Luzige bw’agambye n’akkiririza nti, “Ate era nammwe abalina bizineesi ez’amaanyi zenjogeddeko,  okutandika n’olunaku lw’enkya, ebifo byammwe biyinza okuggalwa singa binaaba tebitadde mu nkola biragiro bya gavumenti.”

Akakiiko k’ebyokwerinda aka disitulikiti katuula ku ky’okussa ebiragiro bya Pulezidenti mu nkola wabula Luzige agambye, ebiragiro ebipya byeyafunye okuva mu minisitule y’ebyobulamu bya njawulo nnyo, nti Mityana tennaba kugoberera bulungi biragiro bya Pulezidenti.

“Mikwano gyange njagala okubasaba, obulamu ky’ekisinga obukulu.  Ensonga weeri eyaviiriddeko abaana b’amasomero okuzzibwa awaka, era bizineesi ezimu ne ziggalwawo kw’ossa amasinzizo ne kkooti.”Ssentebe Luzige bw’agambye n’ategeeza nti, “Obulwadde buno butta, tujje eby’obufuzi mu nsonga y’obulwadde buno nkimanyi twetaaga obululu bwammwe naye tetujja kubufuna nga mulwadde oba nga mufudde.”

Alabudde nti, “Tugenda kuggala buli bizineesi, buli kalwaliro, amaduuka agatunde eby’obulimi, buli kirabo kya mmere, amaduuka amanene, ppaaka ya ttakisi ate bannannyinigo n’abakulembera ebifo ebyo bavunanibwe olw’okujeemera omukulembeze w’eggwanga ku ky’okutangira okusasaana kw’ekirwadde kya Kolona.”

“Nkimanyi mulina eddembe lyammwe ery’obuntu naye teriyimirirawo nga muli balwadde. N’olwekyo nsabiddwa okubawa okulabulwa kuno, okutuukiriza ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga mu bwangu nga tetunnabatuukako. Ssaabasajja Kabaka awangaale.” Ssentebe wa disitulikiti y’e Mityana bw’agambye.

Bino webiggyidde, ng’omukulembeze w’eggwanga yakoogerako eri bannayuganda omulundi ogw’okusatu mu bbanga lya nnaku nnya zokka, ku by’ekirwadde kya Kolona ekiri mu kulya ensi yonna kumpi kugimalawo. 

Okunaaba mu ngalo ne ssabbuuni ly’erimu ku makubo agayambako mu kutta akawuka kano akeefudde mukoko mu ggwanga lya Italy emirambo gyegiyiika buli lunaku ekyaviiriddeko omukulembeze waayo okwogerako eri eggwanga lye ng’attulukusa amaziga olw’ekirwadde okubazimbako akayumba.  

Pulezidenti Museveni agambye, ye ekirwadde k’akirwanyise mu ngeri ya kite kiyeekera,  kwekuwa ebiragiro bannayuganda byebateekwa okulagira era alagidde ebitongole ebikuumaddembe okulaba nga ebiragiro by’awadde bigobererwa.   

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here