BAWEZE 23: EKIRWADDE KYA KOLONA KY’ONGEDDE OKUTAAMA MU UGANDA, OMUWENDO GULINNYE

0
324

Bya Emma Mugejjera

OBUDDE bugayeggaye, ekirwadde kya Kolona kyongedde okutaama, mu lunaku lumu abantu abalala mwenda bakakasiddwa nti kyabayodde nga kati omuwendo guli 23! 

Okusinziira ku bifulumiziddwa aba minisitule y’eby’obulamu mu kiro ekikeesezza Olwomukaaga, abantu bataano kati bagattiddwa ku balala 18 abasoose okukakaasibwa nti balwadde ba Kolona.

Abakulu mu minisitule bagambye,  “Abantu bataano bakakasiddwa nti balina Kolona nga kati omuwendo bali 23 mu Uganda. Ku bantu 227 abakebeddwa leero, 222 balamu, bataano ekirwadde kibayodde. Tujja kwongera okubategeeza byonna mu bujjuvu.”

Pulezidenti Museveni yasoose kutezeeza ggwanga ng’abantu abaakebeddwa mu nnaku ebbiri e mabega abali eyo mu 301, bana bokka be baabadde basangiddwa n’ekirwadde, ye kye yayise amawulire     ag’essanyu. 

Muzeeyi yagambye,  n’abalwadde bakubye ku matu.

Wabula ate amawulire g’abalwadde okweyongera, kireseewo okutya okw’amaanyi. 

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here