ATANDIKIDDE MU GGIYA: Sipiika Kawalya agenda wa Bobi Wine ne Katikkiro Mayiga okunyumya olutabaalo

0
231

Bya Emma Mugejjera

MUNNA People Power Haji Abubaker Kawalya, essaawa yonna wakubissaamu engatto ayolekere e Magere mu State House ewa Hon. Bobi Wine, olunavaayo ayambuke e Bulange Mengo okuloopera Katikkiro Charles Peter Mayiga olutabaalo lw’Obwasipiika bwa KCCA bweyawangudde ku Lwokuna lwa wiiki eno.

Olwaleero, Sipiika Kawalya akedde ku Top radio mu pulugulaamu y’eby’obufuzi eyitibwa ‘Negwozadde’ ng’ekubiriziddwa munnawulire ow’erinnya Steven Dunstan Busuulwa. 

Oluvuddeyo, ayogeddeko ne bannamawulire ku Kolping Hotel e Makerere n’agamba Obwakabaka bwa Buganda n’obukulembeze bwa People Power bwansonga nnyo mu buwanguzi bweyatuseeko. 

“Obuwanguzi bwaffe twabwesigamizza nnyo ku Katonda, Obwakabaka bwa Buganda ne bannaffe aba People Power. Olutalo twaluwangudde era ngenda wa Hon. Bobi Wine ne mukama waffe Katikkiro okumuloopera olutabaalo.” Sipiika Kawalya bw’agambye bannamawulire.

Ono atugambye, “Ewa Katikkiro sigendayo kumuloopera lutabaalo kyokka, wabula olukiiko lwa Kampala lwenkubiriza luteekwa  okumanya nsonga ki enkulu mu Kampala Obwakabaka zebwagala tuteseeko era but u butuwa butya amagezi mu ngeri y’okuzikwatamu.”

“Tulowooza nti Owek. Katikkiro okuwabula kwe kujja kutuyamba nnyo nga tuteeseza abantu ba Ssaabasajja mu Kampala.” Kawalya nga y’akiikirira Lubaga North mu  , bweyatugambye.

Yategeezezza bannamawulire nti ensisinkano ye ne Katikkiro asuubirwa okuwereekerwako bakansalabe.

“Waliwo ensonga y’akatale k’e Nakulabye gyetwetaaga okufunako ebilowoozo okuva ewa Katikkiro kuba abantu baffe bayitirivu abakakoleramu, bali ku bunkenke.” Kawalya bweyangamba. 

Ku ky’okugenda ewa Hon. Bobi Wine e Magere, Sipiika Kawalya amanyiddwa obulungi nti wa People Power yagambye akkiririza mu nteekateeka za Hon. Kyagulanyi ng’agendayo kumwebaza olw’okumuwagira.

Hon. Kyagulanyi yeyasoose okuweereza Kawalya obubaka obumuyozaayoza ng’ayitira ku mukutu gwe gu Muntu munyumiza wala era n’amwogerako nga munnankyuukakyuuka eyeesigika era mukwano gwe ennyo.

Mu kalulu akaabadde ak’okulya n’okukomba essowaani,  Kawalya owa People Power yamezze Doreen Nyanjura owa Peoples Government n’enkoona n’enywa.  

Munna NRM Bruhan Byaruhanga yeyabadde eky’obumyuuka bwa Sipiika.

Ku Lwokutaano, Kawalya yakubirizza Olukiiko lwe olwasoose nga lwasoose kulanikiramu katemba,  aba Loodimeeya Lukwago bwebasoose okulemera omuggo gwa Sipiika n’entebe ye.

Oluvannyuma bapondoose, ne babireeta. 

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here