Ogwa ‘Uncle Money’ owa Cranes ku by’okutta omuntu gusalwa leero

0
86

Bya Musasi waffe – KKOOTI

WEZINAAWERERA ssaawa munaana leero, kkooti ya Buganda Rd enaaba ekubyeko bugule abawagizi b’omupiira n’abantu b’e Kasubi, bwebanaaba bazze okubeerawo ng’abajulizi ng’omulamuzi Ayo Miriam Okello awa ensala ye oba munnaabwe Jackson Ssewanyana abangi gwebamanyi nga ‘Uncle money’ omuwagizi wa Cranes lukulwe alina omusango okwewozaako.

Uncle money ne Ssenyonga bwe bavunaanibwa

Ono amaze akabanga ng’attuunka n’omusango gw’okutta omuntu mu butanwa.

Uncle Money nga y’amyuka ssentebe w’ekyalo Kasubi Zone VI , yasindikibwa ku metre e Luzira ne munne Benson Ssenyonga ng’ono ye Defensi w’ekyalo oluvanyuma lw’okuggulwako omusango gw’okutta Siraje Tumusiime mu butali bugenderevu.

Tumusiime yattibwa nga 16/08/2019 oluvanyuma lwabatuuze okumutebereza okubeera omubbi nga bano batwalira amateeka mu ngalo ne bamukuba amayinja n’emiggo egyamuttirawo era ekyaddirira ye poliisi okukwata abakulembeze beyalumiriza nti bebaali bakuliddemu abantu okutwalira amatteeka mungalo .

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here