Bya Molly Nalule
OMUKUBI w’ensambaggere ow’erinnya Moses Golola bulijjo gwebayeeya okutomerwa endiga kyaddaaki avuddemu omwasi ku ky’okukomya okugwa mu masiga ng’atokosa ebipipa by’obuugi by’awuuta, atandise okusonda ssente z’embaga, mwebale kusaba omukazi amufunye!
Agambye enju aba kkampuni ya Riham efulumya Roko Boom gyebamuzimbidde yetaagamu mufumbi wa ttooke era wakumweyiwamu mwaka guno, mumusondereko akole embaga enamenya n’emiti!
“Bannaaye biri byemwandabye n’omuyimbi nga tukoze embaga byabadde byakiwaani. Twabadde tukwata vidiyo ya luyimba naye ebya ddala bya mwaka guno, omukazi mufunye mumpe ssente mpase.” Golola nga kati agenda mu myaka 40, bweyategeezezza.
Golola yateeka ettutumu mu muzannyo gw’ensambaggere era lweyagwanjula wano mu ggwanga mu 2011amale aggunde Abdul Qadir Rahim, nnamungi w’omuntu atalabwangako okuleka mu mipiira ogwa Uganda Cranes n’ogwa Masaza yagwetabamu.
Okuva olwo, yafuuka wa ttuunzi era nga muganzi nnyo, kyokka banne buli lwebamubuuza ku by’omukyala, atunula eri ne batuuka n’okutya nti taba nga yatomerwa endiga.
Kati no abasirisizza, 2021 agambye a guy I aguyingira na mugole.