Bya Wasswa Tenywa
JINJA
TUTEGEDDE ebyatutte kiyumba anagwa Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje mu kibuga Jinja ku Lwokutaano lwa wiiki e ewedde, meeya waayo Abdul Majid n’atuuzaa kkanso bukubirire okuyisa ebiteeso.
Ensonda zitutegeezezza nga Mufti eyawerekeddwako ebikonge okuva ku kitebe kya Uganda Muslim Supreme Council e Kampalamukadde bweyagenze ku by’okuzimba omuzikiti mu kibuga Jinja ogunasinga obunene mu Busoga, okuzimba essomero ly’Obusiraamu ery’amanyi ssaako ekijjukizo kya King Faisal eyakiko Kabaka wa Saudi Arabia.
Ono eyakyalirako ekibuga kino mu myaka gy’ensanvu era n’atema evvuunike mu kifo eziyitibwa Mivule Cresent okuzimbawo omuziki etikitaakolebwa, mu kkanso, ekiteeso kyaleeteddwa meeya Abdul Majid Batambuze ne kisembebwa kansala Mariam Nalumansi enteekateeka zitandikirewo, ekyasanyusizza ennyo Mufti Mubajje, n’abayozaayoza.
Yagamble, ‘’Njagala okwebaza meeya Majid Batambuze ne ba kansala mwenna aba municipaali y’e jinja era ndimusanyufu okubeera mu Jinja olw’okuyisa ekiteeso ekikulu bwekityo. Mwebaze Allah olwokuba nti musobola okukolagana obulungi, Abasiraamu n’abatali.”
“Mwongere okubeera obumu lwemuggya okukulaakulanya ekibuga Jinja n’Obusiraamu okutwaliza awamu era mmwe abakulembeze Abasiraamu, mwongere okulaga obukulembeze obulungi abalala basobole okutwegomba.” Mufti Mubajje, bweyategeezezza mu kkanso eyabadde ekubyeko obugule.
Yasuubiza nti Uganda Muslim Supreme Council egenda kukola butaweera okulaba nga municipaali y’e Jinja ng’ekoganira wamu nabantu abenjawulo omuli abagabi b’obuyambi bakulaakulanya ekifo ky’ekijjukizo.
Akola nga Kaazi wa disitulikiti y’e Jinja Sheikh Ahmada Kibirige naye yasiimye obukulembeze bwa Jinja olw’enkolagana ennuungi.
Sipiika Moses Morrison, yeeyamye ewa Mufti ku lwa kkanso okunyweza enkolagana ne Uganda Muslim Supreme Council.
Mubajje yawerekeddwako sentebe wa UMSC Dr. Abdulkadir Iddi Balonde, akulira ebyediini ku UMSC Sheikh Murshid Luwemba, Dayirekita wa Sharia Sheikh Yahya Kakungulu nabalala.
E Jinja yatuseeyo nga zigenda mu ssaawa ttaano ez’okumakya era kkanso eyatutte kumpi essaawa emu n’ekintu olwawedde, n’agenda mu muzikiti gwa Masjid Jamia mu kibuga Jinja, gyeyasaalidde.