Bya Musasi waffe
NAKASEKE
EYALIKO Ssaabaminisita wa Uganda John Patrick Amama Mbabazi alidde ‘esswaga’ ku bikujjuko by’amagye ga UPDF e Nakaseke bw’atuukidde mu kitiibwa bagenero ne bamukubira ssaluti ssaako abanene mu gavumenti okulwanira engalo ze n’akafuba olwo ababisomera mu bbaasi ne batandika nti y’aliba ddala nga ye musika w’omukulu!
Mbabazi eyabadde anekedde mu ssuuti eya ggule ng’asibye n’ettaayi eya kakobe olutuuse, baminisita ne bagenero bonna ne bayimirira mu ngeri y’okumussaamu ekitiibwa olwo n’agenda ng’ababuzaako ng’eno abanene mu magye bwe bamukubira ssaluti ez’okumukumu ezitera okukubirwa Pulezidenti.
Bweyatuuse ewa Gen. Salim Saleh muto wa Pulezidenti Museveni, Mbabazi n’amugamba, “Saleh ondyako biki, ng’ogezze nnyo?” Olwo bonna ne baseka.
John Mitala, omuwandiisi wa kabineeti yasituse mu ntebe ye agenda abuuze ku Mbabazi ng’oli kyangu okulowooza nti Pulezidenti yeyabadde atuuse.
Olwagenze awabadde bannamagye Gen. David Muhoozi aduumira UPDF ne Maj. Gen. Sabiiqti Muzeeyi amyuuka Ssaabaduumizi wa poliisi, yabasanze besimbye bwantongo nga bombiriri baalabiddwa nga beemenyako okumubuzaako.
Embeera eno yatutte eddakiika ezaasobye mu kkumi nga buli munene mu gavumenti alwana okubuuza ku Mbabazi.
Oluvanyuma yaweereddwa entebe mu weema y’abakungu mweyatudde nga wayiseewo eddakiika ntonotono, Pulezidenti Museveni naye n’atuuka.
KIKI EKIKOMEZZAAWO MBABAZI
Kyonna Museveni ne Mbabazi kyebabala, kikulu!
Kumpi gibadde gigenda mu myaka etaano nga Rt. Hon. Amama Mbabazi talinnya ku mikolo gya gavumenti oluvanyuma lw’okusoowagana n’eyali mukamaawe Pulezidenti Museveni era n’afumuulwa ku Bwassaabaminisita n’obwassabawandiisi wa NRM mu 2014.
Mbabazi kwekwesuulamu jjulume ne yeesimba ku Museveni ku bwapulezidenti era yonna gyeyakuba enkungana yasaba abalonzi bamuwe obululu abaggye mu bwavu, obubbi n’obulyake Pulezidenti Museveni bw’abataddemu.
Ebyalangirirwa mu kulonda Mbabazi yabiwakanya era n’addukira mu kkooti ensukkulumu ng’agamba ye bukya abaawo, talabanga bubbi bw’akalulu nga obwaliwo. mu 2016.
Mu kkooti nayo, Museveni yamusingirayo, kwekugyira nga y’esonyiwa eby’obufuzi.
Wabula ennaku zino, Museveni ne Mbabazi omukwano gujula na kubasaza mu kabu ng’abatunuulizi b’ebyobufuzi batandise dda okubyogera nti omukulu y’aliba nga yamukomezzaawo, amuteere ekintu.
Emabegako awo, Museveni yaliko mu maka ga Mbabazi ng’afumbiza muwala. Ababiri bazzeemu okubeerako bonna ku ffamu ya Pulezidenti e Kisozi nga obulundi ogubadde gukyasembyeyo, baabadde mu ggwanga lya Togo ng’ate Mbabazi y’ayaniriza Museveni, ekyalese abatunuulizi b’ensonga nga batakula emitwe ku kibalo ky’abakulu.