BUCHAMAN: Museveni gweyassa ku bwapulezidenti bwa Ghetto agguddwako emisango ebiri n’agobwa ekifo bakirondeddemu mutaseka ‘Hired Gun’

0
458

Bya Willy Kamya

KAMPALA

OMUYIMBI Mark Bugembe amanyiddwa ennyo nga Buchaman ebintu byongedde okumwonoonekera, Muky. Lucy Nakyobe owa State House abadde yakamwegaanira mu Palamenti nti mu bawabuzi ba Pulezidenti Museveni tamanyiddwa, ssente za Gen. Salim Saleh obukadde 200 zeyalidde ku baana ba Ghetto ne zimuzaalira akabasa! 

Gen. Salim Saleh ne Senga wa Ghetto lweyawa Buchamanyiddwa obukadde 200

Abavubuka ba Ghetto bamugobye ku bwapulezidenti era ne bamulabula nti bwe kanamutanda n’asalimbira mu nfo zaabwe, baakumutemako okugulu okw’okubiri, atambulire mu kagaali nga bamulanga obunnanfuusi.

Ekifo kye bakirondeddemu mwanamulenzi mutaseka ‘Hired Gun Moyes’ ng’amannya ge amatuufu ye Joseph Bukenya.

Pulezidenti wa Ghetto Moyes mu lukiiko

Ono yeyawangudde akalulu oluvannyuma lw’okuttunka okw’amanyi wakati wa Kabaaya, Mark ow’e Kamwokya ne Kaka owe Nakulabye.

Paddy Sserunjogi amanyiddwa nga Sobbie eyabadde asuubizza  naye okwesimbawo kyokka okulonda olwatuuse, n’atalabikako.

Okusinziira ku Sandra Nakakeeto amanyiddwa nga Ssenga wa Ghetto mu Uganda, “Nga 21/12/2019, nze ne Buchaman, wamu n’abavubuka ba Ghetto twagenda ewa Gen. Salim Saleh n’a atuwa obukadde 200. Twalowooza Buchaman anaakozesa ssente zino okukyuusa embeera z’abaana ba Ghetto kuba gwe gwali omulamwa naye yazeezibika.

Buchaman, Senga wa Ghetto ne Chairman Ivan

Twalabye talina lugendo,  kwekumufumuula, ne tulonda Moyes ku bwapulezidenti kuba amanyi  ebiruma abaana ba Ghetto.”     

Olwalangiridde Moyes ku bwapulezidenti, ne bamusaba atandikirewo okutalaaga enfo za Ghetto ez’enjawulo nga mu zino mulimu Kasokoso ne Kawaala gyeyasookedde, era tukitegeddeko nti wakutalaaga eggwanga lyonna.

“Ekitutwala mu Ghetto ez’enjawulo, ye pulezidenti waffe omupya okuwuliriza ebizibu ebiruma abavubuka era oluvannyuma, wakusisinkana omukulembeze w’eggwanga abimuloopere.” Ivan Nyombi, ssentebe wa National Ghetto Task Force, bweyatugambye.

Yagambye, ekibaleese, kwekulabula Pulezidenti Museveni okwewala Buchaman kuba abaana ba Ghetto tebamulabawo, balina obukulembeze baabwe ng’enteekateeka z’okubakulaakulanya n’okukyuusa obulamu bwabwe,  ssaako okumukuyegera akalulu, ziyisibwe mu bukulembeze abaana bwebakkiririzaamu. 

Ivan y’abadde ddereeva wa Buchaman ng’abadde akozesa mmotoka ze okumutambuza kyokka olwafuna obukadde 200, n’amugoba n’emmotoka ye, olwo loodi ne yeeyiwamu kapyata.    

SSENGA WA GHETTO AYOGEDDE

Mu mboozi ey’akafubo ne Ssenga yatugambye,  “Mbadde ntambula mu Getto zonna kubanga abantu banzikiririzaamu.”

Yatutegeezezza ng’abaana mu Ghetto ezenjawulo bwe bamutuukirira ne bamugamba, “Ssenga ffe tetwagala Buchaman. Twali twamwerabira dda okuva lweyayawukana ne Bobi Wine nga tetumulaba mu Ghetto ebbange lyonna. Talina ky’agenda kutukolera era oyo tayinza kubeera Pulezidenti waffe.

Wonna wetumulabirako ng’asalimbira mu ghetto zaffe, tugenda kumutemako okugulu kwe okwokubiri abeere ng’atambulira ku kagaali akimanye nti tetumwagala era takiikirira ndowooza zaffe.”

Moyes n’abaana ba Ghetto z’e Kawaala

“Nga Ssenga wa Ghetto, nagenda ewa Buchaman ne njogeramu naye ategeere ebizibu ebiruma abaana era ne mutambuzaako mu nfo ez’enjawulo. Nakizuula nti yali tannafuna ssente okuva ewa Muzeeyi ng’abamu ku bavubuka bwe baali balowooza.” Ssenga wa Ghetto, ng’abeere Magere bweyatugambye.

Ono abaana ba Ghetto gwebasinza okusinziira olw’engeri gy’ananguyiramu yagambye, “Nze nakozesanga ssente zange ne ngulira bakomanda emmere ababeranga ewa Buchaman ng’olwo ye ali yala.”

“Ewa Buchaman e Luwafu mu Makindye waliwo ekyoto,  nga ku Kyoto ekyo abaana basiiba ku njaga. Naye bwe namubuuza, naye  ddala, ‘Buchaman abavubuka bano obateeseza ki singa baba bakuyise ewa Pulezidenti,’ ko ye, ‘Ssenga, tewali nnyo ky’amaanyi naye naawe ebyaffe obimanyi, asatu mu bbanga,  abiri ku nnyama.’ Bino byanneewunyisa.” Ssenga Ghetto bweyatugambye.

Yategeezezza nti yawabula Buchaman, nti ebya ‘asatu mu bbanga, abiri ku nnyama’ si gwe mulamwa gw’abavubuka bo mu ghetto. 

“Namusaba, bw’aliba atuuse ew’obukulembeze w’eggwanga,  amutegeeze nti abavubuka ba Ghetto bangi abalina emirimu mu mitwe, okuli abasobola okwokya ebyuuma, okusiba ‘pavers’, okubajja, okukuba bbulooka z’omusenyu, n’emirimu gy’omumutwe emirala. Nga bano betaaga kukwatako, bakole bave mu kulera engalo.” Ssenga wa Ghetto bweyatutegeezezza n’agattako nti, “Olwo ate abo abatalina mirimu gya mu mitwe,  baterwewo ebifo nga webooleza mmotoka, pulojekiti ng’ezo zibayambe okwekolamu ebibiina bya Sacco ez’enjawulo nga basobolera okutereka akasente, bw’ossaako n’aka akasente Pulezidenti k’aba abongereddeko, olwo beekukulaakulanye.”

Yagambye, kino kyokka ky’ekisobola  okukendereza ddala abo abokya ebipiira n’abakulemberamu okwekalakaasa.

“Mu kunnyanukula, Buchaman yannewunyisa bweyangamba nti, ‘Ssenga sooka ondekemu mmale okutambuza ekintu kyangu, nze njagala kulima njaga. Era bwenatuuka ewa Pulezidenti,  nja kumusaba angulireyo a akanyonyi mwentambulira.’Namubuuza, ennyonyi n’enjaga gy’ayagala okulima,  bigenda kuyamba ki abavubuka bano Ghetto? Kyokka nga by’anziramu biraga,  Buchaman yefaako era yeyagaliza yekka.” Ssenga wa Ghetto bweyatugambye.


‘NNALIWO NGA GEN. SALEH AMUWA  OBUKADDDE 200 NAZEEZIBIKA’ 

Ssenga wa Ghetto ono abadde tava ku lusegere lwa Buchaman, yatunyumirizza ebyaliwo Gen. Saleh lweyawa Buchaman obukadde 200 n’ategeeze nga bweyali agenda okuzikozesa okusimba amasamba g’enjala agaggawale! 

Yatugambye, bwebagenda ewa Gen. Saleh,  Buchaman yaweebwa obukadde 200. 

“Nalowooza nti ssente zino tajja kuzezza yekka. Yasuubiza bakomanda ba zi ghetto akasente. Kyokka teyabawa. Ffe yatuwaako emitwalo etaano etaano ku bukadde 200.Waaliwo abavubuka ba Sobbie abaava mu Kisenyi, bano twali nabo ewa Gen. Saleh kyokka tuba tukomawo ne baamusalako nga tukomawo, ne bamukiika mmotoka era n’abawako obukadde kkumi.” Ssenga bweyatunyumirizza.

Buchaman ne ttiimu ye batuukira Kawanda ku bbaala,  olwo n’atandika okugulira abaana omwenge era awo we webyakoma,  baddamu kumulaba nga yeevugira mu kapyata wa Ragius.

“Kino kyannyongera okunkakasa nti ddala Buchaman talina mulamwa, tali ku nsonga za Ghetto, era tebaayo alimba Pulezidenti nti abavubuka ba Ghetto bali ne Buchaman.” Ssenga nga kati atambula ne Pulezidenti waffe Ghetto omupya, bweyatugambye.

Ye Black messiah ng’ono yeyogeddeko ng’akola ogw’okutunda enjaga mu zi Ghetto yagambye bo Buchaman tebamumanyi mu nfo zaabwe, oyo yenna abaagala ayitire mu Pulezidenti waabwe Moyes okubatuukako. 

SSENTE BAZINZIBAKO – BUCHAMAN

Bwetwatuulkiridde omu ku bantu ba Buchaman ab’okulusegere yatugambye, ssente Gen. Saleh zeyamuwa abayaaye bamusalako ng’azireeta e Kampala, a abamulanga okuzibalyako, bamulanga bwemage.   Ku Lwokutaana,  Pulezidenti wa Ghetto omupya akawungeezi yakamazeeko alambula ghetto z’e Kawaala.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here