BIKALUBYE: Ababaka gabeesibye ku by’okugoba Gen. Tumwine ku Bwaminisita

0
213

Bya Issa Kigongo

ABABAKA ba Palamenti abali mu kukunganya emikono okuggya obwesige mu munnamagye Gen. Elly Tumwine ono nga ye minisita w’ebyobutebenkevu, ekintu kikyabazitooweredde oluvannyuma lw’abamu ku bassaako emikono okutandika okwogeza ebirimi n’okwebulankanya. 

Omubaka Gaffa Mbwatekamwa okuva e Kasambya eyakuliramu ogw’okussa emikono ku kiwandiiko kino, ekyewunyizza buli omu, olukiiko lwa banne nga boogerako ne bannamawulire, loodi ono talulinnyemu.

Yasoose na kuweereza bannamawulire bubaka ng’olukiiko bwerusaziddwaamu.

Ababaka bataano bokka bebalwetabyeemu nga be ba; Theodore Ssekikubo, Moses Kasibante, Allan Ssewanyana, John Baptist Nambeshe ne Barnabas Tinkasiimire.

Mu lukiiko lw’abamawulire abamu ku babaka abavuga ekintu kino lwebatuuzizza ku Palamenti,  Hon. Theodore Ssekikubo owa Lwemiyaga katono atonnyese n’ezziga olwa banne okudduka mu kintu nga ne bwebaakubiddwa amasimu okujja mu lukiiko lwa bannamawulire, bebulankanyizza.      

Ssekikubo atalima kambugu ne Tumwine yagambye, “Kati ekisoigalidde, kwekukowoola mmwe abalonzi muyiteyo ababaka bammwe kuba bwekituuka mu kubalwanirira nga beebulankanya.”

Ababaka okwagala minisita Tumwine agobwe, kyaddiridde alipoota y’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Palamenti okulumiriza munnamagye ono  nga bweyalemesa ababaka okulambula ebifo ebyogerwako omutylugunyizibwa abantu (Safe houses).

Hon. Moses Kasibante yategeezezza ng’ababaka abatuula ku kakiiko ak’eddembe ly’obuntu mu palamenti bwebasaanidde okuteekebwa ku nninga nga bakulemberwaamu akakulira Omubaka Nantume Egunyu era nti bebanditandise mu kussa emikono ku kiwandiiko kino kyokka ekyembi, bazze mu kwebulankanya.

Mu lukungaana lwe lumu,  omubaka wa Makindye West Allan Ssewamyana asabye banna Uganda okwawula ensonga eno ku muntu nga Tumwiine era asuubizza nga bwebajja okwanjulira banna Uganda, ababaka abawagira okutulugunya abantu nga bano be bali mu kwogeza ebirimi ku by’okuggya obwesige mu Tumwine.

Ssewanyana yagambye, “Buuza omubaka wo oba yatadde omukono kukiwandiiko bwaba yakikoze kigya kuba kirungi wabula bw’aba teyay’addako,  kyaabulabe nnyo.”

Hon. John Baptist Nambeshe ategeezezza nga bwebatali mukutiisatiisa babaka wabula okubayita okussa emikono ku kiwandiiko era nga mukaseera kano bandibadde bawezezza emikono ku kiwandiiko ekigoba Tumwine.

Ategeezezza nga Palamenti bweri mu kaseera akazibu ssinga balemererwa okujja obwesige mu minisita Tumwine. 

Kinanjokya nkimize Barnabas Tinkasiimire akoowodde babaka banne abatannasa mikono ku kiwandiiko okukikola mu bwangu kuba kyekisinga obulungi okusinga okwesuulirayo ogwa naggamba.

Abakiise bano sabiiti egya gyebasigazza okukungaanya emikono bwe batagifuna, kiba kibayiseeko.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here